-
1 Samwiri 21:1-6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
21 Oluvannyuma Dawudi yagenda e Nobu+ eri Akimereki kabona. Akimereki bwe yalaba Dawudi n’atya, era n’amubuuza nti: “Lwaki oli wekka, era lwaki toli na muntu yenna?”+ 2 Awo Dawudi n’addamu Akimereki kabona nti: “Kabaka alina ky’antumye okukola, naye aŋŋambye nti, ‘Tewaba muntu yenna amanya kye nkutumye okukola, era n’ebiragiro bye nkuwadde.’ Ndagaanye n’abasajja bange mbeeko we mbasisinkana. 3 Bw’oba olinawo emigaati etaano gimpe, oba mpa ekirala kyonna ekiriwo.” 4 Naye kabona n’agamba Dawudi nti: “Tewali migaati gya bulijjo, emigaati emitukuvu gye giriwo,+ kasita abasajja bo baba nga babadde beewala okwegatta n’abakazi.”+ 5 Dawudi n’addamu kabona nti: “Tubadde tetwegatta na bakazi nga bwe kibadde ku mirundi emirala nga ŋŋenze okutabaala.+ Bwe kiba nti abasajja bange beekuuma nga batukuvu ne bwe baba ku mirimu egya bulijjo, kati tebaasingewo nnyo okuba abatukuvu leero nga bali ku mulimu ogw’enjawulo!” 6 Awo kabona n’amuwa emigaati emitukuvu,+ kubanga tewaaliwo migaati mirala okuggyako emigaati egy’okulaga egyali giggiddwa mu maaso ga Yakuwa, ku lunaku lwe gyaggibwawo basseewo emiggya.
-