-
Eby’Abaleevi 24:5-9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 “Onoddiranga obuwunga obutaliimu mpulunguse n’obukolamu obugaati 12 obwetooloovu.* Buli kamu kajja kukolebwanga mu bitundu bibiri bya kkumi ebya efa* y’obuwunga. 6 Ojja kubuteeka ku mmeeza eya zzaabu omulongoofu mu maaso ga Yakuwa.+ Ojja kubuteeka mu mbu bbiri, buli lubu obugaati mukaaga.+ 7 Ojja kuteeka obubaani obweru obulongoofu ku buli lubu, era bujja kuba ng’ekiweebwayo ekikiikirira obugaati,+ ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro. 8 Ku buli Ssabbiiti anaateekanga obugaati obwo mu maaso ga Yakuwa.+ Eno ndagaano ya lubeerera wakati wange n’Abayisirayiri. 9 Bunaabanga bwa Alooni ne batabani be+ era banaabuliiranga mu kifo ekitukuvu,+ kubanga kintu kitukuvu nnyo eri kabona okuva ku biweebwayo bya Yakuwa ebyokebwa n’omuliro. Lino tteeka lya lubeerera.”
-