-
Matayo 23:13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 “Zibasanze mmwe abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muggalirawo abantu enzigi z’Obwakabaka obw’omu ggulu; mmwe mmwennyini temuyingira era mulemesa n’abo ababa bayingira.+
-
-
1 Abassessalonika 2:14-16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
14 Ab’oluganda, mwakoppa ab’omu bibiina bya Katonda eby’omu Buyudaaya ebigoberera Kristo Yesu, kubanga mwabonyaabonyezebwa abantu b’eggwanga lyammwe+ nga nabo bwe babonyaabonyezebwa Abayudaaya, 15 abatta ne Mukama waffe Yesu+ ne bannabbi era abaatuyigganya.+ Ate era tebasanyusa Katonda naye baziyiza ebintu ebiganyula abantu bonna, 16 nga bagezaako okutulemesa okwogera eri abantu ab’amawanga, ate nga kino kyandiyambye ab’amawanga okulokolebwa.+ Mu kukola ekyo beeyongera bweyongezi kwonoona. Naye ku nkomerero obusungu bwe bubajjidde.+
-