-
Ebikolwa 4:27, 28Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 Mazima ddala Kerode ne Pontiyo Piraato+ nga bali wamu n’abantu ab’amawanga era n’ab’omu Isirayiri, baakuŋŋaana wamu mu kibuga kino okulwanyisa omuweereza wo omutukuvu Yesu, gwe wafukako amafuta.+ 28 Baakuŋŋaana wamu okukola ekyo kye wagamba nti kijja kubaawo,+ era wakituukiriza n’amaanyi go okusinziira ku kigendererwa kyo.
-