Yokaana 5:30 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 30 Tewali kintu na kimu kye nnyinza kukola ku bwange. Nsala omusango nga Kitange bw’aŋŋamba;* era engeri gye nsalamu omusango ya butuukirivu,+ kubanga sinoonya bye njagala wabula eby’oli eyantuma.+ Yokaana 5:36 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 36 Naye obujulirwa bwange businga obwa Yokaana, kubanga emirimu Kitange gye yampa okukola, gino gye nkola, gye gimpaako obujulirwa nti Kitange ye yantuma.+ Yokaana 17:4 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 4 Nkugulumizza ku nsi+ kubanga mmalirizza omulimu gwe wampa okukola.+ Yokaana 19:30 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 30 Yesu bwe yamala okukomba ku nvinnyo enkaatuufu n’agamba nti: “Kiwedde!”+ n’akutamya omutwe gwe, n’afa.*+
30 Tewali kintu na kimu kye nnyinza kukola ku bwange. Nsala omusango nga Kitange bw’aŋŋamba;* era engeri gye nsalamu omusango ya butuukirivu,+ kubanga sinoonya bye njagala wabula eby’oli eyantuma.+
36 Naye obujulirwa bwange businga obwa Yokaana, kubanga emirimu Kitange gye yampa okukola, gino gye nkola, gye gimpaako obujulirwa nti Kitange ye yantuma.+
30 Yesu bwe yamala okukomba ku nvinnyo enkaatuufu n’agamba nti: “Kiwedde!”+ n’akutamya omutwe gwe, n’afa.*+