16 “Kubanga Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka,+ buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.+ 17 Katonda teyatuma Mwana we ku nsi kugisalira musango, wabula yamutuma ensi esobole okulokolebwa okuyitira mu ye.+