-
Ebikolwa 1:21, 22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
21 N’olwekyo, kyetaagisa omu ku basajja abaabanga awamu naffe mu kiseera kyonna Mukama waffe Yesu kye yamala ng’akola emirimu gye* mu ffe, adde mu kifo kye. 22 Omusajja oyo ateekwa okuba nga yali naffe okuva Yesu lwe yabatizibwa Yokaana+ okutuusa ku lunaku lwe yatuggibwako.+ Asaanidde okuba nga mujulirwa ow’okuzuukira kwe awamu naffe.”+
-
-
Ebikolwa 4:2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 Baali banyiivu olw’okuba abatume baali bayigiriza abantu era nga balangirira okuzuukira kwa Yesu okuva mu bafu.+
-