2 Kyokka era wajjawo bannabbi ab’obulimba mu bantu, ng’era bwe wajja okujjawo abayigiriza ab’obulimba mu mmwe.+ Era mu nkiso bajja kuleetera abantu okwekutulakutulamu obubiina obw’omutawaana era bajja kwegaana mukama waabwe eyabagula,+ beereeteko okuzikirira okw’amangu.