Matayo 26:27, 28 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 27 Ate era n’akwata ekikopo, ne yeebaza, n’akibawa ng’agamba nti: “Munyweko mmwenna,+ 28 kino kikiikirira ‘omusaayi gwange+ ogw’endagaano,’+ ogugenda okuyiibwa ku lw’abangi+ basobole okusonyiyibwa ebibi.+ Abeefeso 1:7 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 7 Oluvannyuma lw’okusasula ekinunulo, Omwana we yatununula okuyitira mu musaayi gwe+ era tusonyiyiddwa ebyonoono byaffe+ okusinziira ku kisa kya Katonda eky’ensusso.
27 Ate era n’akwata ekikopo, ne yeebaza, n’akibawa ng’agamba nti: “Munyweko mmwenna,+ 28 kino kikiikirira ‘omusaayi gwange+ ogw’endagaano,’+ ogugenda okuyiibwa ku lw’abangi+ basobole okusonyiyibwa ebibi.+
7 Oluvannyuma lw’okusasula ekinunulo, Omwana we yatununula okuyitira mu musaayi gwe+ era tusonyiyiddwa ebyonoono byaffe+ okusinziira ku kisa kya Katonda eky’ensusso.