-
Ebikolwa 21:27, 28Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 Ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okuggwaako, Abayudaaya okuva mu Asiya ne bamulaba ng’ali mu yeekaalu ne bakuma omuliro mu bantu bonna, ne bamukwata 28 nga bwe baleekaana nti: “Abasajja ba Isirayiri, mutuyambe! Ono ye musajja ayigiriza abantu bonna mu buli kifo ng’avumirira abantu baffe, Amateeka, n’ekifo kino; aleese n’Abayonaani mu yeekaalu n’ayonoona ekifo kino ekitukuvu.”+
-