-
Abaruumi 15:26, 27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
26 Ab’omu Masedoniya ne Akaya basanyufu okugabana ebintu byabwe n’abalala nga babaako bye bawa abaavu ab’omu batukuvu abali e Yerusaalemi.+ 27 Kyo kituufu nti basanyuse okukola bwe batyo, naye balina ebbanja okuyamba abatukuvu abo; kubanga bwe kiba nti ab’amawanga bagabanye ku bintu byabwe eby’omwoyo, nabo balina ebbanja okufaayo ku byetaago byabwe eby’omubiri.+
-
-
Abafiripi 4:15-17Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Mu butuufu mmwe Abafiripi mukimanyi nti bwe nnatandika okubuulira amawulire amalungi, era bwe nnava e Masedoniya, tewali kibiina na kimu ekyassa ekimu nange mu kugaba ne mu kufuna, okuggyako mmwe mmwekka;+ 16 kubanga bwe nnali mu Ssessalonika, mwampeereza obuyambi, si mulundi gumu gwokka wabula ebiri. 17 Tekiri nti njagala ekirabo, wabula njagala ebibala ebyongera ku bugagga bwammwe.
-