-
1 Abakkolinso 4:11-13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 N’okutuusa kaakano tukyeyongera okulumwa enjala,+ okulumwa ennyonta,+ obutaba na bya kwambala,*+ okukubibwa, obutaba na wa kusula, 12 era n’okutegana nga tukola n’emikono gyaffe.+ Bwe batuvuma, ffe tubaagaliza mikisa;+ bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza;+ 13 bwe twogerwako obubi, ffe twogera na kisa;+ n’okutuusa kaakano, tufuuse ng’ebisasiro eby’ensi n’obucaafu bwayo.
-