-
Abaruumi 3:20-22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 N’olwekyo, tewali ayinza kuyitibwa mutuukirivu mu maaso ge olw’okutuukiriza ebyo amateeka bye galagira,+ kubanga amateeka ge galeetera omuntu okumanya ekibi.+
21 Naye awatali kwesigama ku mateeka, obutuukirivu bwa Katonda bwoleseddwa,+ era kino kyayogerwa mu Mateeka ne mu ebyo ebyawandiikibwa bannabbi;+ 22 era abo bonna abalina okukkiriza bafuuka batuukirivu mu maaso ga Katonda olw’okukkiririza mu Yesu Kristo. Kubanga tewaliiwo kusosola.+
-