-
Abaruumi 11:25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 Ab’oluganda, njagala mumanye ekyama kino ekitukuvu,+ muleme okwetwala okuba ab’amagezi: Abamu ku Bayisirayiri bafuuse bakakanyavu. Ekyo kijja kuba bwe kityo okutuusa ng’omuwendo omujjuvu ogw’ab’amawanga gumaze okuggwaayo,
-
-
Abaruumi 16:25, 26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 Oyo asobola okubanyweza okuyitira mu mawulire amalungi ge nnangirira, n’okuyitira mu kubuulira ebikwata ku Yesu Kristo, okusinziira ku kubikkulwa kw’ekyama ekitukuvu+ ekibadde kikwekeddwa okuva edda n’edda 26 naye nga kati kyoleseddwa* era ne kimanyisibwa eri amawanga gonna okuyitira mu Byawandiikibwa eby’obunnabbi, nga Katonda ataggwaawo bwe yalagira, amawanga gasobole okubeera n’okukkiriza, gamugondere;
-