Matayo 5:14 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 14 “Mmwe muli kitangaala kya nsi.+ Ekibuga ekiri ku lusozi tekiyinza kukisibwa. Abeefeso 5:8, 9 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 8 kubanga mwaliko mu kizikiza, naye kati muli mu kitangaala+ olw’okuba muli ba Mukama waffe.+ Mweyongere okutambula ng’abaana b’ekitangaala, 9 kubanga ebibala by’ekitangaala bibaamu obulungi n’obutuukirivu n’amazima ebya buli kika.+ 1 Peetero 2:9 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 9 Naye mmwe muli “ggwanga ddonde, bakabona abaweereza nga bakabaka, eggwanga ettukuvu,+ ekintu kya Katonda ekiganzi,+ musobole okulangirira obulungi”+ bw’Oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala kye eky’ekitalo.+ 1 Peetero 2:12 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 12 Mubeerenga n’empisa ennungi mu b’amawanga,+ kibe nti, wadde nga babayita abakozi b’ebintu ebibi, bwe balaba ebikolwa byammwe ebirungi+ bagulumize Katonda ku lunaku olw’okukebererwako.
8 kubanga mwaliko mu kizikiza, naye kati muli mu kitangaala+ olw’okuba muli ba Mukama waffe.+ Mweyongere okutambula ng’abaana b’ekitangaala, 9 kubanga ebibala by’ekitangaala bibaamu obulungi n’obutuukirivu n’amazima ebya buli kika.+
9 Naye mmwe muli “ggwanga ddonde, bakabona abaweereza nga bakabaka, eggwanga ettukuvu,+ ekintu kya Katonda ekiganzi,+ musobole okulangirira obulungi”+ bw’Oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala kye eky’ekitalo.+
12 Mubeerenga n’empisa ennungi mu b’amawanga,+ kibe nti, wadde nga babayita abakozi b’ebintu ebibi, bwe balaba ebikolwa byammwe ebirungi+ bagulumize Katonda ku lunaku olw’okukebererwako.