-
Okuva 24:6-8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Musa n’addira ekitundu kimu kya kubiri eky’omusaayi n’aguteeka mu bbakuli, ate ogwasigalawo n’agumansira ku kyoto. 7 Oluvannyuma n’akwata ekitabo ky’endagaano n’akisomera abantu.+ Ne bagamba nti: “Byonna Yakuwa by’ayogedde tuli beetegefu okubikola, era tujja kuba bawulize.”+ 8 Musa n’addira omusaayi n’agumansira ku bantu+ n’agamba nti: “Guno gwe musaayi gw’endagaano Yakuwa gy’akoze nammwe okusinziira ku bigambo bye muwulidde.”+
-