-
Isaaya 61:10Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 Ndisanyukira nnyo mu Yakuwa.
Obulamu bwange bwonna bulijaganyiza mu Katonda wange.+
-
-
Abeefeso 5:25-27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 Abaami mweyongere okwagala bakyala bammwe+ nga Kristo bwe yayagala ekibiina ne yeewaayo ku lwakyo,+ 26 asobole okukitukuza ng’akinaaza n’amazzi okuyitira mu kigambo,+ 27 alyoke akireete gy’ali mu kitiibwa kyakyo, nga tekiriiko bbala oba olufunyiro oba ekintu kyonna ekiringa ebyo,+ naye nga kitukuvu era nga tekiriiko kamogo.+
-