Yoswa
9 Bakabaka bonna abaali ku ludda lwa Yoludaani+ olw’ebugwanjuba bwe baawulira ekyali kibaddewo, nga bano be baali mu kitundu eky’ensozi, mu Sefera, ku lubalama lwonna olw’Ennyanja Ennene,*+ ne mu maaso ga Lebanooni—bakabaka b’Abakiiti, ab’Abaamoli, ab’Abakanani, ab’Abaperizi, ab’Abakiivi, n’ab’Abayebusi+— 2 ne beegatta wamu okulwana ne Yoswa ne Isirayiri.+
3 Abantu b’omu Gibiyoni+ nabo baawulira ekyo Yoswa kye yali akoze Yeriko+ ne Ayi.+ 4 Awo ne basala amagezi ne bateeka emmere mu nsawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n’ensawo z’omwenge ez’amaliba enkadde ezaali zikubiddwa ebiraka; 5 era baayambala engatto ezaali zikubiddwa ebiraka n’engoye enkadde. Emigaati gyabwe gyonna gyali gikaze nga gikunkumuka. 6 Ne bagenda eri Yoswa mu lusiisira e Girugaali,+ ne bamugamba ye awamu n’abasajja ba Isirayiri nti: “Tuvudde mu nsi ey’ewala ennyo. Kale kaakano mukole naffe endagaano.” 7 Awo abasajja ba Isirayiri ne bagamba Abakiivi+ nti: “Muyinza okuba nga mubeera kumpi naffe. Kale tuyinza tutya okukola nammwe endagaano?”+ 8 Ne baddamu Yoswa nti: “Tuli baweereza* bo.”
Awo Yoswa n’abagamba nti: “Mmwe baani, era muva wa?” 9 Ne bamuddamu nti: “Abaweereza bo bavudde mu nsi ey’ewala ennyo+ olw’erinnya lya Yakuwa Katonda wo, kubanga twawulira ettutumu lye ne byonna bye yakola mu Misiri,+ 10 era ne byonna bye yakola bakabaka ababiri ab’Abaamoli abaali ku luuyi luli* olwa Yoludaani, Kabaka Sikoni+ owa Kesuboni ne Kabaka Ogi+ owa Basani, eyali mu Asutaloosi. 11 N’olwekyo, abakadde n’abantu bonna ab’omu nsi yaffe baatugamba nti, ‘Mwesibirire eby’okukozesa ku lugendo mugende mubasisinkane. Mubagambe nti: “Tujja kuba baweereza bammwe;+ mukole naffe endagaano.”’+ 12 Emigaati gyaffe gino gyali gibuguma we twaviirayo okujja okubasisinkana. Naye kati mulaba gikaze era gikunkumuka.+ 13 Ate era ensawo z’omwenge zino zaali mpya we twaziteeramu omwenge, naye kati ziyulise.+ N’engoye zaffe n’engatto zaffe bikaddiye olw’okuba olugendo lubadde luwanvu nnyo.”
14 Awo abasajja ba Isirayiri ne batoola ku mmere yaabwe okugyekebejja, naye ne bateebuuza ku Yakuwa.+ 15 Yoswa n’akola nabo endagaano ey’emirembe+ ng’abalagaanya obutabatta, era abaami b’omu kibiina ne babalayirira okukuuma endagaano eyo.+
16 Oluvannyuma lw’ennaku ssatu nga bamaze okukola nabo endagaano, baawulira nti baali babeera kumpi awo. 17 Awo Abayisirayiri ne batambula ne batuuka ku bibuga byabwe ku lunaku olw’okusatu, era ebibuga byabwe byali Gibiyoni,+ Kefira, Beerosi, ne Kiriyasu-yalimu.+ 18 Naye Abayisirayiri tebaabalwanyisa, kubanga abaami b’omu kibiina baali babalayiridde mu linnya lya Yakuwa+ Katonda wa Isirayiri. Awo ekibiina kyonna ne kitandika okwemulugunya ku baami. 19 Abaami bonna ne bagamba ekibiina kyonna nti: “Okuva bwe kiri nti twabalayirira mu linnya lya Yakuwa Katonda wa Isirayiri, tetukkirizibwa kubakolako kabi. 20 Kino kye tujja okukola: Tetujja kubatta, Katonda aleme okutusunguwalira, kubanga twabalayirira.”+ 21 Abaami ne bongerako nti: “Ka baleme kuttibwa; banaasennyeranga ekibiina kyonna enku era banaakikimiranga amazzi.” Ekyo abaami kye baabasuubiza.
22 Awo Yoswa n’abayita n’abagamba nti: “Lwaki mwatulimba ne mutugamba nti, ‘Tuva wala nnyo,’ so ng’ate mubeera kumpi naffe?+ 23 Okuva leero mukolimiddwa,+ era munaabanga baddu abasennya enku era abakima amazzi g’ennyumba ya Katonda wange.” 24 Ne baddamu Yoswa nti: “Ekyo twakikola+ olw’okuba abaweereza bo baategeezebwa nti Yakuwa Katonda wammwe yali alagidde Musa omuweereza we okubawa ensi yonna, era n’okuzikiriza abantu bonna abagirimu,+ ne tutya nti muyinza okututta.+ 25 Kaakano tuli mu mikono gyo. Tukole kyonna ky’olaba nga kirungi era nga kituufu mu maaso go.” 26 Bw’atyo Yoswa bwe yakola; yabawonya mu mukono gw’Abayisirayiri ne batabatta. 27 Naye ku lunaku olwo Yoswa yabafuula abasennyi b’enku era abakimi b’amazzi g’ekibiina+ n’ag’ekyoto kya Yakuwa mu kifo Katonda kye yali ajja okulonda,+ era ekyo kye bakyakola n’okutuusa leero.+