Okubikkulirwa
9 Malayika ow’okutaano n’afuuwa ekkondeere lye.+ Ne ndaba emmunyeenye eyali ewanuse mu ggulu n’egwa ku nsi, era n’eweebwa ebisumuluzo by’obunnya.+ 2 N’eggulawo obunnya, omukka ne guva mu bunnya nga gulinga oguva mu kyokero ekinene, enjuba n’ekwata ekizikiza+ n’empewo nayo n’ekwata ekizikiza olw’omukka ogwo ogwava mu bunnya. 3 Mu mukka ogwo ne muvaamu enzige ne zijja ku nsi;+ ne ziweebwa obuyinza ng’obw’enjaba ez’oku nsi. 4 Ne zigambibwa obutakola kabi ku bimera eby’oku nsi wadde ku muddo wadde ku muti gwonna, wabula ku bantu abataalina kabonero ka Katonda ku byenyi byabwe.+
5 Era enzige ezo ne zitakkirizibwa kubatta wabula okubalumya okumala emyezi etaano era obulumi bwe baali bawulira bwalinga obw’omuntu alumiddwa enjaba.+ 6 Mu nnaku ezo, abantu balinoonya okufa naye tebalikuzuula, era balyegomba okufa naye kulibadduka.
7 Era enzige zaali zifaanana ng’embalaasi ezitegekeddwa okulwana olutalo;+ ku mitwe gyazo kwaliko ebifaanana ng’engule eza zzaabu, obwenyi bwazo bwali ng’obw’omuntu, 8 era zaalina enviiri eziringa ez’abakazi. Amannyo gaazo gaalinga ag’empologoma;+ 9 era zaalina eby’omu kifuba ebiringa eby’omu kifuba eby’ekyuma. Eddoboozi ly’ebiwaawaatiro byazo lyali ng’ery’amagaali agasikibwa embalaasi agagenda mu lutalo.+ 10 Zaalina emikira nga giriko obufumita ng’enjaba; era mu mikira gyazo mwe mwali obuyinza bwazo obw’okulumya abantu okumala emyezi etaano.+ 11 Era zaalina kabaka azifuga, nga ye malayika ow’obunnya.+ Mu Lwebbulaniya erinnya lye ye Abaddoni,* ate mu Luyonaani ye Apoliyoni.*
12 Ekibonyoobonyo ekimu kiwedde. Laba! Ebibonyoobonyo ebirala bibiri+ bijja oluvannyuma lw’ebintu bino.
13 Malayika ow’omukaaga+ n’afuuwa ekkondeere lye.+ Ne mpulira eddoboozi nga liva mu mayembe g’ekyoto ekya zzaabu+ ekiri mu maaso ga Katonda 14 nga ligamba malayika ow’omukaaga eyalina ekkondeere nti: “Sumulula bamalayika abana abasibiddwa ku mugga omunene Fulaati.”+ 15 Bamalayika abana abaategekerwa essaawa n’olunaku n’omwezi n’omwaka, ne basumululwa okutta ekimu eky’okusatu eky’abantu.
16 Era omuwendo gw’eggye eryali lyebagadde embalaasi gwali 20,000 emirundi 10,000:* gwe muwendo gwazo gwe nnawulira. 17 Embalaasi ze nnalaba mu kwolesebwa zaali bwe ziti era n’abo abaali bazituddeko baali bwe bati: Baalina eky’omu kifuba ekyalina langi emmyufu, eya bbulu, n’eya kyenvu; emitwe gy’embalaasi gyalinga egy’empologoma,+ era mu kamwa kaazo mwali muvaamu omuliro, omukka, n’obuganga.* 18 Ekitundu kimu kya kusatu eky’abantu ne battibwa omuliro, omukka n’obuganga, nga bino bye bibonyoobonyo ebisatu ebyava mu kamwa k’embalaasi. 19 Obuyinza bw’embalaasi bwali mu kamwa kaazo ne mu mikira gyazo; kubanga emikira gyazo gyalinga emisota era gyalina emitwe, era emikira egyo gye zaali zikozesa okukola akabi ku bantu.
20 Naye abantu abaasigalawo abatattibwa bibonyoobonyo tebeenenya bikolwa bya ngalo zaabwe, era tebaalekayo kusinza badayimooni n’ebifaananyi ebya zzaabu, n’ebya ffeeza, n’eby’ekikomo, n’eby’amayinja, n’eby’emiti, ebitasobola kulaba wadde okuwulira oba okutambula.+ 21 Era tebeenenya butemu bwabwe n’ebikolwa byabwe eby’obusamize n’eby’obugwenyufu* n’obubbi.