Okuva
37 Awo Bezaleeri+ n’akola Essanduuko+ mu mbaawo z’omuti gwa sita. Obuwanvu bwayo bwali emikono* ebiri n’ekitundu, obugazi bwayo bwali omukono gumu n’ekitundu, ate obugulumivu bwayo bwali omukono gumu n’ekitundu.+ 2 Yagibikkako zzaabu omulongoofu munda ne kungulu, era n’agissaako omuge ogwa zzaabu.+ 3 Bwe yamala n’agikolera empeta nnya eza zzaabu n’aziteeka waggulu w’amagulu gaayo ana, ng’ebbiri ziri ku ludda olumu ate ng’endala ebbiri ziri ku ludda olulala. 4 Ate era yakola emisituliro mu mbaawo z’omuti gwa sita n’agibikkako zzaabu.+ 5 Emisituliro yagiyingiza mu mpeta ezaali ku Ssanduuko eruuyi n’eruuyi, nga gya kusituzanga Essanduuko.+
6 Yakola eky’okubikkako ekya zzaabu omulongoofu;+ obuwanvu bwakyo bwali emikono ebiri n’ekitundu ate obugazi omukono gumu n’ekitundu.+ 7 Era yaweesa bakerubi babiri+ mu zzaabu ng’akozesa ennyondo n’abateeka ku njuyi zombi ez’eky’okubikkako.+ 8 Kerubi omu yali ku ludda olumu ate kerubi omulala yali ku ludda olulala. Yakola bakerubi n’abateeka ku njuyi zaakyo zombi. 9 Ebiwaawaatiro bya bakerubi byali byanjuluziddwa waggulu, nga basiikiriza eky’okubikkako n’ebiwaawaatiro byabwe.+ Baali batunuuliganye, ng’obwenyi bwabwe butunudde ku ky’okubikkako.+
10 Era yakola emmeeza mu mbaawo z’omuti gwa sita;+ obuwanvu yali emikono ebiri, obugazi yali omukono gumu, ate obugulumivu yali omukono gumu n’ekitundu.+ 11 Yagibikkako zzaabu omulongoofu era n’agissaako omuge ogwa zzaabu. 12 Bwe yamala n’akola omugo gwayo, ng’obugazi bwagwo bwenkana ekibatu,* era n’agissaako omuge ogwa zzaabu. 13 Ate era yagikolera empeta nnya eza zzaabu n’aziteeka ku nsonda ennya amagulu we gakwataganira n’emmeeza. 14 Empeta ezo zaali kumpi n’omugo, nga za kuwanirira emisituliro egy’okusituza emmeeza. 15 Era yakola emisituliro mu mbaawo z’omuti gwa sita n’agibikkako zzaabu, nga gya kusituzanga emmeeza. 16 Ebyo bwe byaggwa, n’akola ebintu by’oku mmeeza mu zzaabu omulongoofu—ebibya byayo, ebikopo byayo n’ebbakuli zaayo, n’ensumbi zaayo, ebyali eby’okukozesa okufuka ebiweebwayo eby’eby’okunywa.+
17 Era yakola ekikondo ky’ettaala+ ekya zzaabu omulongoofu. Yakiweesa ng’akozesa ennyondo. Entobo yaakyo n’enduli yaakyo n’obukopo bwakyo n’ebituttwa byakyo n’ebimuli byakyo byonna byali wamu.+ 18 Amatabi mukaaga gaali gava ku kikondo, ng’amatabi asatu gava ku ludda lwakyo olumu ate ng’amatabi amalala asatu gava ku ludda lwakyo olulala. 19 Ku buli limu ku matabi asatu agaali ku ludda olumu olw’ekikondo ky’ettaala kwaliko obukopo busatu obulinga ebimuli by’omuloozi, n’ebituttwa, n’ebimuli, nga byonna bigenda biddiriŋŋana, ne ku buli limu ku matabi asatu ag’oludda olulala kwaliko obukopo busatu obulinga ebimuli by’omuloozi, n’ebituttwa, n’ebimuli, nga byonna bigenda biddiriŋŋana. Amatabi gonna omukaaga agaali ku kikondo ky’ettaala bwe gatyo bwe gaakolebwa. 20 Ku nduli y’ekikondo ky’ettaala kwaliko obukopo buna obulinga ebimuli by’omuloozi, n’ebituttwa, n’ebimuli, nga byonna bigenda biddiriŋŋana. 21 Wansi w’amatabi abiri agasooka agava ku nduli y’ekikondo ky’ettaala waaliwo ekituttwa, ne wansi w’amatabi abiri agaddako waaliwo ekituttwa, era ne wansi w’amatabi abiri agasembayo waaliwo ekituttwa. Bwe kityo bwe kyali wansi w’amatabi gonna omukaaga agava ku nduli y’ekikondo ky’ettaala. 22 Ebituttwa n’amatabi n’ekikondo ky’ettaala kyonna byaweesebwa n’ennyondo mu zzaabu omulongoofu nga byonna biri wamu. 23 Ettaala zaakyo omusanvu,+ ne magalo zaakyo, n’eby’okuteekangamu evvu ly’entambi yabikola mu zzaabu omulongoofu. 24 Ekikondo ky’ettaala n’ebintu byakyo byonna yabikola mu ttalanta* ya zzaabu omulongoofu.
25 Awo n’akola ekyoto eky’obubaani+ mu mbaawo z’omuti gwa sita. Enjuyi zaakyo ennya zaali zenkanankana; obuwanvu yali omukono gumu, obugazi omukono gumu, n’obugulumivu emikono ebiri. Amayembe gaakyo gaali ga muti gumu nakyo.+ 26 Yakibikkako zzaabu omulongoofu kungulu ne ku njuyi zaakyo zonna ne ku mayembe gaakyo, era yakissaako omuge ogwa zzaabu. 27 Yakikolera empeta bbiri eza zzaabu n’aziteeka wansi w’omuge gwakyo ku njuyi bbiri ezitunuuliganye, nga za kuwaniriranga emisituliro egy’okukisituza. 28 Oluvannyuma yakola emisituliro mu mbaawo z’omuti gwa sita n’agibikkako zzaabu. 29 Ate era yakola amafuta amatukuvu+ n’obubaani obw’akaloosa+ obulongoofu nga bitabuddwa mu ngeri ya kikugu.