Olubereberye
15 Oluvannyuma lw’ebyo, Yakuwa n’agamba Ibulaamu mu kwolesebwa nti: “Totya+ Ibulaamu, nze ngabo yo.+ Empeera yo eriba nnene nnyo.”+ 2 Awo Ibulaamu n’agamba nti: “Yakuwa Mukama Afuga Byonna, olimpa mpeera ki nze nga sirina mwana era ng’oyo agenda okusikira ennyumba yange ye Eriyeza+ omusajja ow’e Ddamasiko?” 3 Era n’agamba nti: “Tompadde zzadde,+ era omu* ku b’omu nnyumba yange y’agenda okunsikira.” 4 Naye Yakuwa n’amugamba nti: “Omusajja oyo tagenda kukusikira naye omwana wo kennyini* y’alikusikira.”+
5 Awo n’amufulumya ebweru n’amugamba nti: “Tunula waggulu ku ggulu obale emmunyeenye, bw’oba ng’osobola okuzibala.” N’ayongera n’amugamba nti: “Ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”+ 6 N’akkiririza mu Yakuwa;+ n’amubala okuba omutuukirivu.+ 7 Era n’amugamba nti: “Nze Yakuwa eyakuggya mu Uli eky’Abakaludaaya okukuwa ensi eno ebeere yiyo.”+ 8 Awo n’amugamba nti: “Yakuwa Mukama Afuga Byonna, nnaamanyira ku ki nti eriba yange?” 9 N’amuddamu nti: “Funa ente enkazi ey’emyaka esatu, embuzi enkazi ey’emyaka esatu, endiga ennume ey’emyaka esatu, ejjiba, n’enjiibwa ento.” 10 N’afuna ensolo ezo, n’azisalamu wakati, ebitundu n’abiteeka nga bitunuuliganye, naye ebinyonyi byo teyabisalamu. 11 Ebinyonyi ebirya ennyama ne bikka ku nsolo ezaali zittiddwa, naye Ibulaamu n’abigoba.
12 Enjuba bwe yali enaatera okugwa, Ibulaamu n’akwatibwa otulo tungi, era ekizikiza eky’entiisa ne kimujjira. 13 Awo Katonda n’agamba Ibulaamu nti: “Kimanye nti ezzadde lyo baliba bagwira mu nsi endala, era nti abantu b’omu nsi eyo balibafuula baddu era balibabonyaabonya okumala emyaka 400.+ 14 Naye eggwanga lye baliweereza ndirisalira omusango,+ era oluvannyuma balivaayo nga balina ebintu bingi.+ 15 Naye ggwe oligenda eri bajjajjaabo mu mirembe era oliziikibwa ng’okaddiye bulungi.+ 16 Naye mu mulembe ogw’okuna balikomawo wano,+ kubanga okwonoona kw’Abaamoli tekunnatuuka ku kigero kijjuvu.”+
17 Enjuba bwe yali emaze okugwa, era nga n’ekizikiza eky’amaanyi kikutte, ne walabika ekikoomi, era omumuli ogwaka ne guyita wakati w’ebitundu by’ensolo. 18 Ku lunaku olwo Yakuwa n’akola endagaano ne Ibulaamu+ ng’agamba nti: “Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno,+ okuva ku mugga gw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, Omugga Fulaati:+ 19 ensi y’Abakeeni,+ n’Abakenizi, n’Abakadumooni, 20 n’Abakiiti,+ n’Abaperizi,+ n’Abaleefa,+ 21 n’Abaamoli, n’Abakanani, n’Abagirugaasi, n’Abayebusi.”+