Matayo
3 Mu nnaku ezo, Yokaana+ Omubatiza yajja ng’abuulira+ mu ddungu ly’e Buyudaaya, 2 ng’agamba nti: “Mwenenye, kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.”+ 3 Mu butuufu, ono ye yayogerwako okuyitira mu nnabbi Isaaya+ mu bigambo bino: “Eddoboozi ery’omwanguka ery’oyo ayogerera mu ddungu nti: ‘Muteeketeeke ekkubo lya Yakuwa!* Mutereeze amakubo ge.’”+ 4 Yokaana yayambalanga ebyambalo ebyakolebwa mu byoya by’eŋŋamira, era yeesibanga olukoba olw’eddiba mu kiwato.+ Yalyanga nzige na mubisi gwa njuki.+ 5 Awo abantu b’omu Yerusaalemi, n’ab’omu Buyudaaya yenna, n’ab’omu bitundu byonna ebyetoolodde Yoludaani ne bagenda gy’ali,+ 6 n’ababatiza* mu Mugga Yoludaani,+ era ne baatula ebibi byabwe mu lujjudde.
7 Bwe yalaba Abafalisaayo n’Abasaddukaayo+ bangi nga bajja okubatizibwa, n’abagamba nti: “Mmwe abaana b’emisota egy’obusagwa,+ ani abalabudde okudduka obusungu obugenda okujja?+ 8 Kale nno, mubale ebibala ebiraga nti mwenenyezza, 9 era temweyibaala nga mugamba nti, ‘Ibulayimu ye kitaffe.’+ Kubanga mbagamba nti Katonda asobola okufunira Ibulayimu abaana okuva mu mayinja gano. 10 Embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. N’olwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gwa kutemebwa gusuulibwe mu muliro.+ 11 Nze mbabatiza na mazzi okulaga nti mwenenyezza;+ naye anvaako ennyuma ansinga obuyinza, era sisaanira na kumuggyamu ngatto.+ Oyo ajja kubabatiza n’omwoyo omutukuvu+ n’omuliro.+ 12 Olugali lwe luli mu mukono gwe, era ajja kulongooseza ddala egguuliro lye era akuŋŋaanyize eŋŋaano ye mu tterekero, naye ebisusunku ajja kubyokya n’omuliro+ ogutayinza kuzikizibwa.”
13 Awo Yesu n’ava e Ggaliraaya, n’ajja ku Mugga Yoludaani eri Yokaana okubatizibwa.+ 14 Naye Yokaana n’agezaako okumuziyiza ng’agamba nti: “Ggwe osaanidde okumbatiza, naye ate ggwe ojja gye ndi?” 15 Yesu n’amuddamu nti: “Ka kibeere bwe kiti kaakano, kubanga kitugwanira okukola eby’obutuukirivu byonna mu ngeri eno.” Awo n’alekera awo okumuziyiza. 16 Yesu bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n’ava mu mazzi, era laba! eggulu ne libikkuka,+ n’alaba omwoyo gwa Katonda nga gumukkako nga gulinga ejjiba.+ 17 Era eddoboozi okuva mu ggulu+ ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange+ omwagalwa gwe nsiima.”*+