1 Bassekabaka
7 Sulemaani kyamutwalira emyaka 13 okuzimba ennyumba* ye,+ okutuusa ennyumba ye yonna lwe yamalirizibwa.+
2 Yazimba ennyumba eyitibwa Ekibira kya Lebanooni,+ nga ya mikono* 100 obuwanvu, emikono 50 obugazi, n’emikono 30 obugulumivu. Yagizimba ku mpagi ez’emiti gy’entolokyo nga ziri mu mbu nnya; era ku mpagi ezo kwaliko emirabba egy’emiti gy’entolokyo.+ 3 Waggulu ku mikiikiro egyali ku mpagi yakomererako embaawo z’emiti gy’entolokyo; empagi zaali 45, era buli lubu lwalimu empagi 15. 4 Amadirisa agaali mu fuleemu gaali mu nnyiriri ssatu, era buli limu lyali litunudde mu linnaalyo nga gali mu mbu ssatu. 5 Emiryango gyonna, n’emyango, n’amadirisa agaali mu mbu essatu agaali gatunuuliganye, byonna byalina fuleemu za njuyi nnya ezenkanankana.
6 Yazimba Ekigango* eky’Empagi, nga kya mikono 50 obuwanvu, n’emikono 30 obugazi, nga mu maaso gaakyo waliwo ekisasi ekiwaniriddwa empagi, era nga kiriko n’akasolya.
7 Yazimba n’Ekigango* ky’Entebe ey’Obwakabaka+ we yasaliranga emisango—Ekigango eky’Okulamuliramu+—era baakikomererako embaawo ez’entolokyo okuva wansi okutuuka waggulu ku mikiikiro.
8 Ennyumba* Sulemaani mwe yali agenda okubeera yali mu luggya lulala,+ era yali yeesuddeko katono Ekigango;* enzimba yaayo yali y’emu n’ey’Ekigango ekyo. Sulemaani yazimbira ne muwala wa Falaawo, gwe yali awasizza,+ ennyumba eyali efaanana Ekigango ekyo.
9 Amayumba ago gonna gaazimbibwa na mayinja amateme ag’ebbeeyi,+ okuva ku musingi okutuuka ku bisenge waggulu, n’ebweru okutuukira ddala ku luggya olunene.+ Amayinja ago gaali gasaliddwa na misumeeno ku njuyi zaago zonna, okusinziira ku bipimo byago. 10 Omusingi gwazimbibwa na mayinja ag’ebbeeyi amanene ennyo; amayinja agamu gaali ga mikono kkumi, ate amalala nga ga mikono munaana. 11 Kungulu w’amayinja ago kwaliko amayinja amalala ag’ebbeeyi agaali gatemeddwa okusinziira ku bipimo byago, era n’embaawo z’entolokyo. 12 Oluggya olunene lwali lwetooloddwa ekisenge kya mbu ssatu ez’amayinja amateme, n’olubu lumu olw’embaawo z’entolokyo, nga biringa eby’ekisenge ky’oluggya olw’omunda+ olw’ennyumba ya Yakuwa n’ekisasi ky’ennyumba.+
13 Awo Kabaka Sulemaani n’atumya ne baleeta Kiramu+ okuva e Ttuulo. 14 Yali mutabani wa nnamwandu ow’omu kika kya Nafutaali, era kitaawe yali musajja w’e Ttuulo, eyakolanga ebintu mu kikomo;+ Kiramu yalina obukugu obw’amaanyi n’okutegeera,+ n’obumanyirivu mu kukola ebintu ebya buli kika mu kikomo. Kiramu yajja eri Kabaka Sulemaani n’amukolera emirimu gye gyonna.
15 Yakola empagi bbiri ez’ekikomo,+ nga buli emu ya mikono 18 obugulumivu, era nga buli emu ku mpagi ezo ebbiri+ omuguwa ogugipima okugyetooloola yonna gwa mikono 12. 16 Yakola emitwe ebiri mu kikomo egy’okuteeka waggulu ku mpagi ezo. Buli mutwe gwali emikono etaano obugulumivu. 17 Ku mitwe egyali waggulu ku mpagi kwaliko obutimba obwaliko obujegere;+ buli mutwe gwaliko obutimba musanvu. 18 Yakola obuntu obulinga enkomamawanga nga buli mu nnyiriri bbiri okwetooloola akatimba akaali ku mutwe ogwali waggulu ku mpagi; bw’atyo bwe yakola ku mitwe gyombi. 19 Emitwe egyali waggulu ku mpagi z’ekisasi gyali ng’ebimuli by’amalanga, era obugulumivu bwagyo bwali emikono ena. 20 Emitwe gyali ku mpagi ebbiri, waggulu w’ekitundu ekiringa ekibutobuto ekiriraanye akatimba, era buli mutwe gwali gwetooloddwa obuntu 200 obulinga enkomamawanga nga buli mu nnyiriri.+
21 Yasimba empagi ez’ekisasi kya yeekaalu.*+ Yasimba empagi ey’oku mukono ogwa ddyo* n’agiyita Yakini,* ate era n’asimba empagi ey’oku mukono ogwa kkono* n’agiyita Bowaazi.*+ 22 Ekitundu ky’empagi ekya waggulu kyali kifaanana ng’ebimuli by’amalanga. Bwe gutyo omulimu ogw’okukola empagi ne gumalirizibwa.
23 Yakola ttanka* ey’ekikomo+ nga ya mikono 10 okuva ku mugo okutuuka ku mugo era nga nneetooloovu; obugulumivu yali emikono 5, era ng’okugipima yonna okugyetooloola kyetaagisa omuguwa gwa mikono 30.+ 24 Wansi w’omugo gwayo waaliyo obuntu obwalinga obutanga+ okugyetooloola yonna, nga buli kkumi kkumi buli mukono okwetooloola ttanka yonna. Obuntu obwo obulinga obutanga bwali mu nnyiriri bbiri, era bwali bwaweesebwa kuli. 25 Ttanka yali etudde ku nte ennume 12;+ ente 3 zaali zitunudde bukiikakkono, 3 nga zitunudde bugwanjuba, 3 nga zitunudde bukiikaddyo, ne 3 nga zitunudde buvanjuba; ttanka yali ezituddeko, era obubina bwazo bwali butunudde munda. 26 Omubiri gwayo gwali gwenkana ekibatu obugazi;* omugo gwayo gwali ng’omugo gw’ekikopo, era gwali ng’ekimuli ky’amalanga. Yali egendamu ebigera bya basi* 2,000.
27 Yakola ebigaali* kkumi eby’ekikomo,+ nga buli kimu kya mikono ena obuwanvu, emikono ena obugazi, n’emikono esatu obugulumivu. 28 Era bwe biti ebigaali ebyo bwe byakolebwa: byalina embaati ez’omu mabbali era embaati ezo zaali mu fuleemu. 29 Ku mbaati ezo ezaali mu fuleemu ne ku fuleemu kwennyini kwaliko ebifaananyi by’empologoma,+ n’eby’ente, n’ebya bakerubi.+ Waggulu ne wansi w’ebifaananyi by’empologoma n’eby’ente waaliwo emige. 30 Buli kigaali kyalina nnamuziga nnya ez’ekikomo n’ebyuma eby’ekikomo kwe zaali zeetooloolera, era ebintu ebyali ku nsonda zaakyo ennya bye byali bibiwanirira. Ebiwanirira byali wansi w’ebbenseni, era buli kimu kyaliko emige nga gyaweesebwa wamu nakyo. 31 Ebbenseni yali etudde ku kiwanirira waggulu ku kigaali. Entobo y’ebbenseni yali ekka wansi mu kiwanirira obuwanvu bwa mukono gumu, era omumwa gw’ekiwanirira gwali mwetooloovu. Ekiwanirira kyonna kyali omukono gumu n’ekitundu obugulumivu, era ekitundu ekya waggulu eky’ekiwanirira kyaliko enjola. Embaati zaakyo ez’omu mabbali tezaali nneetooloovu wabula nga za njuyi nnya ezenkanankana. 32 Nnamuziga ennya zaali wansi w’embaati ez’omu mabbali, era ebiwanirira nnamuziga byali biyungiddwa ku kigaali; buli nnamuziga yali omukono gumu n’ekitundu obugulumivu. 33 Nnamuziga ezo zaali zikoleddwa nga nnamuziga z’eggaali. Ebiziwanirira, empanka zaazo, empagi zaazo, n’emisingi gyazo, byonna byakolebwa mu kyuma ekisaanuuse. 34 Buli kigaali kyali kya nsonda nnya, nga ku buli nsonda kuliko ekiwanirira kimu; ebiwanirira byaweesebwa wamu n’ekigaali.* 35 Waggulu ku kigaali kwaliko ekintu ekyekulungirivu nga kya mukono gumu n’ekitundu obuwanvu era waggulu ku kigaali, fuleemu zaakyo n’embaati zaakyo ez’omu mabbali zaali zaaweesebwa wamu* nakyo. 36 Kungulu ku fuleemu zaakyo ne ku mbaati zaakyo ez’omu mabbali yayolako ebifaananyi bya bakerubi, n’eby’empologoma, n’eby’enkindu, okusinziira ku bbanga eryali ku buli kimu, nga ziriko n’emige okwetooloola wonna.+ 37 Bw’atyo bwe yakola ebigaali ekkumi;+ byonna byaweesebwa mu ngeri y’emu,+ byali bya bipimo bye bimu, era nga bifaanagana.
38 Yakola ebbenseni kkumi ez’ekikomo,+ era buli bbenseni yali egyaamu ebigera bya basi 40. Buli bbenseni yali ya mikono ena.* Ku buli kimu ku bigaali ebyo ekkumi kwaliko bbenseni emu emu. 39 Yateeka ebigaali bitaano ku luuyi olwa ddyo olw’ennyumba, n’ebirala bitaano ku luuyi olwa kkono olw’ennyumba, era yateeka ttanka ku luuyi olwa ddyo olw’ennyumba okwolekera ebukiikaddyo w’ebuvanjuba.+
40 Kiramu+ yakola n’ebbenseni, ebitiiyo,+ era n’ebbakuli.+ Bw’atyo Kiramu n’amaliriza omulimu gwonna ogw’ennyumba ya Yakuwa, gwe yakolera Kabaka Sulemaani:+ 41 empagi ebbiri+ n’emitwe egyali ng’ebbakuli egyali waggulu ku zo; obutimba obubiri+ obwali obw’okubikka ku mitwe ebiri egyali ng’ebbakuli egyali waggulu ku mpagi; 42 enkomamawanga 400+ ezaali ez’okuteeka ku butimba obubiri, nga buli katimba ka kubaako ennyiriri bbiri ez’enkomamawanga, nga bwali bwa kubikka ku mitwe ebiri egyali ng’ebbakuli egyali waggulu ku mpagi ebbiri; 43 ebigaali ekkumi+ n’ebbenseni ekkumi+ ezaali ku bigaali; 44 ttanka,+ n’ente ennume 12 ttanka kwe yali etudde; 45 ebiyoolerwamu evvu, ebitiiyo, ebbakuli, n’ebintu byonna Kiramu bye yakola mu kikomo ekizigule. Yabikolera Kabaka Sulemaani nga bya mu nnyumba ya Yakuwa. 46 Ebintu ebyo kabaka yabikolera mu butiba obw’ebbumba mu kitundu kya Yoludaani wakati wa Sukkosi ne Zalesani.
47 Ebintu ebyo byonna Sulemaani teyapima buzito bwabyo, olw’okuba byali bingi nnyo. Obuzito bw’ekikomo ekyakozesebwa tebwamanyika.+ 48 Sulemaani yakola ebintu byonna eby’ennyumba ya Yakuwa: ekyoto+ ekya zzaabu; emmeeza eya zzaabu+ eyali ey’okuteekako emigaati egy’okulaga; 49 ebikondo by’ettaala+ ebya zzaabu omulongoofu, nga bitaano biri ku luuyi olwa ddyo nga n’ebirala bitaano biri ku luuyi olwa kkono mu maaso g’Awasinga Obutukuvu;* ebimuli,+ n’ettaala, ne magalo ebya zzaabu;+ 50 bbenseni, ebizikiza omuliro,+ ebbakuli, ebikopo,+ n’eby’okuteekamu amanda,+ nga bya zzaabu omulongoofu; ebinnya omutuula ebikondo by’enzigi ez’ennyumba ey’omunda,+ kwe kugamba, Awasinga Obutukuvu, n’eby’enzigi za yeekaalu,+ nga nabyo bya zzaabu.
51 Bw’atyo Kabaka Sulemaani n’amaliriza omulimu gwonna gwe yalina okukola ku nnyumba ya Yakuwa. Awo Sulemaani n’aleeta ebintu kitaawe Dawudi bye yatukuza,+ era n’ateeka ffeeza ne zzaabu n’ebintu ebirala mu mawanika g’omu nnyumba ya Yakuwa.+