Ekyabalamuzi
13 Abayisirayiri ne baddamu okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa,+ Yakuwa n’abawaayo mu mukono gw’Abafirisuuti okumala emyaka 40.+
2 Waaliwo omusajja ow’e Zola+ ow’omu luggya lw’Abadaani+ eyali ayitibwa Manowa.+ Mukazi we yali mugumba nga talina mwana.+ 3 Malayika wa Yakuwa n’alabikira mukazi we n’amugamba nti: “Laba, kaakano oli mugumba era tolina mwana; naye ojja kuba olubuto ozaale omwana ow’obulenzi.+ 4 Weegendereze oleme kunywa nvinnyo oba ekitamiiza ekirala kyonna,+ era tolyanga kintu kyonna ekitali kirongoofu.+ 5 Laba! ojja kuba olubuto ozaale omwana ow’obulenzi era akamweso tekayitanga ku mutwe gwe,+ kubanga omwana oyo ajja kuba Munaziri* wa Katonda okuviira ddala lw’alizaalibwa,* era y’alikulemberamu okulokola Isirayiri mu mukono gw’Abafirisuuti.”+
6 Omukazi n’agenda n’agamba bbaawe nti: “Waliwo omusajja wa Katonda ow’amazima azze gye ndi era abadde afaanana nga malayika wa Katonda ow’amazima, ng’atiisa nnyo. Simubuuzizza gy’avudde era tambuulidde linnya lye.+ 7 Naye aŋŋambye nti, ‘Laba! Ojja kuba olubuto ozaale omwana ow’obulenzi. Tonywa nvinnyo oba ekitamiiza ekirala kyonna era tolya kintu kyonna ekitali kirongoofu, kubanga omwana ajja kuba Munaziri wa Katonda okuviira ddala lw’alizaalibwa* okutuusa lw’alifa.’”
8 Awo Manowa ne yeegayirira Yakuwa ng’agamba nti: “Ai Yakuwa, omusajja wa Katonda ow’amazima gw’otumye tukusaba akomewo gye tuli atubuulire kye tusaanidde okukolera omwana ajja okuzaalibwa.” 9 Katonda ow’amazima n’awulira Manowa, malayika wa Katonda ow’amazima n’akomawo eri omukazi bwe yali ng’atudde ku ttale nga Manowa bbaawe tali naye. 10 Amangu ago omukazi n’adduka n’agamba bbaawe nti: “Omusajja eyajja gye ndi ku luli andabikidde.”+
11 Awo Manowa n’asituka n’agoberera mukazi we ne bagenda awaali omusajja, Manowa n’amubuuza nti: “Ye ggwe musajja eyayogera ne mukazi wange?” N’amuddamu nti: “Ye nze.” 12 Manowa n’agamba nti: “Ebigambo byo ka bituukirire. Omwana asaanidde kukuzibwa atya, era kiki ky’alikola?”+ 13 Malayika wa Yakuwa n’agamba Manowa nti: “Mukazi wo yeewale ebintu byonna bye nnamugambye.+ 14 Talyanga ezzabbibu oba ekintu kyonna ekiva mu zzabbibu wadde okunywa envinnyo oba ekitamiiza ekirala kyonna,+ era talyanga ekintu kyonna ekitali kirongoofu.+ Akwate ebintu byonna bye nnamulagira.”
15 Awo Manowa n’agamba malayika wa Yakuwa nti: “Tukwegayiridde togenda, ka tumale okukufumbira omwana gw’embuzi.”+ 16 Naye malayika wa Yakuwa n’agamba Manowa nti: “Ne bwe sigenda, sijja kulya mmere yo; naye bw’oba oyagala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Yakuwa, kiweeyo.” Manowa yali tamanyi nti oyo yali malayika wa Yakuwa. 17 Manowa n’agamba malayika wa Yakuwa nti: “Erinnya lyo ggwe ani+ tusobole okukuwa ekitiibwa ng’ebigambo byo bituukiridde?” 18 Naye malayika wa Yakuwa n’amugamba nti: “Tombuuza linnya lyange kubanga lya kitalo.”
19 Manowa n’atwala omwana gw’embuzi n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’abiwaayo eri Yakuwa ku lwazi. Era yali akola ekintu ekyewuunyisa nga Manowa ne mukazi we batunula. 20 Ennimi z’omuliro bwe zaava ku kyoto ne zitumbuka waggulu, malayika wa Yakuwa n’ayambukira mu nnimi z’omuliro ogw’oku kyoto nga Manowa ne mukazi we balaba. Amangu ago ne bavunnama wansi, obwenyi bwabwe ne butuukira ddala ku ttaka. 21 Malayika wa Yakuwa teyaddamu kulabikira Manowa ne mukazi we. Awo Manowa n’alyoka amanya nti oyo yali malayika wa Yakuwa.+ 22 Manowa n’agamba mukazi we nti: “Tugenda kufa, kubanga tulabye Katonda.”+ 23 Naye mukazi we n’amugamba nti: “Singa Yakuwa abadde ayagala kututta, teyandikkirizza kiweebwayo ekyokebwa+ n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke okuva mu mukono gwaffe, era teyanditulaze bintu bino byonna era teyanditubuulidde kintu na kimu ku bintu bino.”
24 Nga wayiseewo ekiseera omukazi yazaala omwana ow’obulenzi n’amutuuma Samusooni;+ omulenzi n’agenda ng’akula, era Yakuwa ne yeeyongera okumuwa emikisa. 25 Bwe waayitawo ekiseera, omwoyo gwa Yakuwa ne gumukkako+ ng’ali e Makanedani+ wakati wa Zola ne Esutawoli.+