Yoswa
7 Naye Abayisirayiri tebaali beesigwa ku bikwata ku bintu ebyali eby’okuzikirizibwa, kubanga Akani+ mutabani wa Kalumi, mutabani wa Zabudi, mutabani wa Zeera, ow’omu kika kya Yuda, yatwala ku bintu ebyali eby’okuzikirizibwa.+ Awo Yakuwa n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri.+
2 Yoswa n’atuma abasajja okuva e Yeriko okugenda e Ayi,+ ekiriraanye Besi-aveni ebuvanjuba wa Beseri,+ n’abagamba nti: “Mwambuke mukette ekitundu ekyo.” Awo abasajja ne bambuka ne baketta Ayi. 3 Bwe baakomawo eri Yoswa ne bamugamba nti: “Tekyetaagisa bantu bonna kwambuka. Abasajja ng’enkumi bbiri oba ng’enkumi ssatu bamala okuwangula Ayi. Toteganya bantu bonna kugendayo, kubanga abantu baayo batono nnyo.”
4 Awo abasajja nga 3,000 ne bambukayo, naye ne badduka abasajja b’e Ayi.+ 5 Abasajja b’e Ayi ne batta abasajja 36, era ne babawondera okuva ku mulyango gw’ekibuga okutuukira ddala e Sebalimu,* era ne beeyongera okubattira ku kaserengeto. Awo emitima gy’abantu ne gisaanuuka ne giba ng’amazzi.
6 Awo Yoswa n’abakadde ba Isirayiri ne bayuza ebyambalo byabwe ne beeyala mu maaso g’Essanduuko ya Yakuwa okutuusa akawungeezi, era ne bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe. 7 Yoswa n’agamba nti: “Ai Yakuwa, Mukama Afuga Byonna, lwaki waggya abantu bano eyo yonna emitala wa Yoludaani, okutuwaayo mu mukono gw’Abaamoli tuzikirizibwe? Kale singa twasalawo okusigala ku ludda luli* olwa Yoludaani! 8 Ai Yakuwa, njogere ki kaakano ng’Abayisirayiri badduse* abalabe baabwe? 9 Abakanani n’abantu bonna ab’omu nsi bwe banaakiwulira bajja kutuzingiza era basaanyeewo erinnya lyaffe ku nsi; kale kiki ky’onookolera erinnya lyo ekkulu?”+
10 Awo Yakuwa n’agamba Yoswa nti: “Yimuka! Lwaki weeyaze ku ttaka? 11 Abayisirayiri boonoonye. Bamenye endagaano yange+ gye nnabalagira okukuuma. Batutte ebimu ku bintu ebibadde eby’okuzikirizibwa;+ babibbye+ ne babikweka mu bintu byabwe.+ 12 N’olwekyo, Abayisirayiri tebajja kusobola kwaŋŋanga balabe baabwe. Bajja kudduka abalabe baabwe kubanga bafuuse ekintu eky’okuzikirizibwa. Sijja kuddamu kubeera nammwe okuggyako nga muzikirizza ekintu eky’okuzikirizibwa ekiri mu mmwe.+ 13 Yimuka otukuze abantu,+ era obagambe nti: ‘Mwetukuze enkya, kubanga Yakuwa Katonda wa Isirayiri agambye nti: “Ekintu eky’okuzikirizibwa kiri mu ggwe, Isirayiri. Temujja kusobola kwaŋŋanga balabe bammwe okutuusa nga muggye mu mmwe ekintu eky’okuzikirizibwa. 14 Ku makya ebika bijja kuvaayo kimu ku kimu, era ekika Yakuwa ky’anaalondamu+ kijja kusembera, era mu kika ekyo, ennyumba Yakuwa gy’anaalondamu ejja kusembera, era mu nnyumba eyo, amaka Yakuwa g’anaalondamu gajja kusembera, era mu maka ago, omusajja Yakuwa gw’anaalondamu ajja kusembera. 15 Era oyo anaasangibwa ng’alina ekintu eky’okuzikirizibwa ajja kwokebwa omuliro,+ ye n’ebibye byonna, olw’okuba amenye endagaano+ ya Yakuwa era olw’okuba akoze ekintu eky’obuswavu mu Isirayiri.”’”
16 Ku lunaku olwaddirira Yoswa n’agolokoka ku makya nnyo n’asembeza ebika bya Isirayiri, kimu ku kimu, era ekika kya Yuda ne kirondebwa. 17 N’asembeza ennyumba z’omu kika kya Yuda, era ennyumba ya Zeera+ n’erondebwamu, oluvannyuma n’asembeza ab’ennyumba ya Zeera ne bavaayo omu ku omu, era Zabudi n’alondebwamu. 18 Oluvannyuma n’asembeza ab’omu nnyumba ya Zabudi, ne bavaayo omu ku omu, Akani mutabani wa Kalumi, mutabani wa Zabudi, mutabani wa Zeera, ow’ekika kya Yuda n’alondebwamu.+ 19 Awo Yoswa n’agamba Akani nti: “Nkwegayiridde mwana wange, wa Yakuwa Katonda wa Isirayiri ekitiibwa omwatulire ky’okoze. Mbuulira ky’okoze. Tokinkweka.”
20 Awo Akani n’agamba Yoswa nti: “Mazima ddala nze eyayonoonye mu maaso ga Yakuwa Katonda wa Isirayiri, era kino kye nnakoze. 21 Bwe nnalaba mu munyago ekyambalo eky’ebbeeyi ekirabika obulungi ekyava e Sinaali,+ ne sekeri* 200 eza ffeeza, n’ekitole kya zzaabu ekizitowa sekeri 50, ne mbyegomba ne mbitwala. Bikwekeddwa mu ttaka mu weema yange, ne ssente ziri wansi waabyo.”
22 Amangu ago Yoswa n’atuma abantu, ne badduka mbiro ne bagenda mu weema ye, era ekyambalo kyali kikwekeddwa mu weema ye, nga ssente ziri wansi waakyo. 23 Ne baggya ebintu mu weema ne babireeta eri Yoswa n’Abayisirayiri bonna, ne babissa mu maaso ga Yakuwa. 24 Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne batwala Akani+ mutabani wa Zeera mu Kiwonvu Akoli,+ awamu ne ffeeza, n’ekyambalo eky’ebbeeyi, n’ekitole kya zzaabu,+ ne batabani be, ne bawala be, n’ente ze, n’endogoyi ze, n’ebisibo bye, ne weema ye, n’ebibye byonna. 25 Yoswa n’agamba nti: “Lwaki otuleetedde emitawaana?*+ Naawe Yakuwa agenda kukuleetera emitawaana olwa leero.” Awo Abayisirayiri bonna ne babakuba amayinja,+ oluvannyuma ne babookya omuliro.+ Bwe batyo bwe baabakuba amayinja ne bafa. 26 Ne bamutuumako entuumu ennene ey’amayinja, ekyaliwo n’okutuusa leero. Awo obusungu bwa Yakuwa ne bukkakkana.+ Eyo ye nsonga lwaki n’okutuusa leero ekifo ekyo kiyitibwa Ekiwonvu Akoli.*