Yoswa
23 Nga wayiseewo ekiseera kiwanvu oluvannyuma lwa Yakuwa okuwa Abayisirayiri ekiwummulo+ ne baba nga tebakyatawaanyizibwa balabe baabwe bonna abaali babeetoolodde, era nga ne Yoswa akaddiye nnyo,+ 2 Yoswa yayita Abayisirayiri bonna,+ abakadde baabwe, abaali babakulira, abalamuzi baabwe, n’abaami baabwe,+ n’abagamba nti: “Nkaddiye nnyo. 3 Mulabye ebyo byonna Yakuwa Katonda wammwe by’akoze amawanga gano gonna ku lwammwe, kubanga Yakuwa Katonda wammwe y’abadde abalwanirira.+ 4 Okuyitira mu kukuba akalulu,+ nnabawa ekitundu ekirimu amawanga agakyasigaddewo okuba obusika eri ebika byammwe,+ nga kw’otadde n’ekyo ekyalimu amawanga gonna ge nnazikiriza,+ okuva ku Mugga Yoludaani okutuuka ku Nnyanja Ennene* mu bugwanjuba. 5 Yakuwa Katonda wammwe ye yagasindiikiriza okuva mu maaso gammwe,+ era ye yagagoba ku lwammwe, ne mulya ensi yaabwe nga Yakuwa Katonda wammwe bwe yabasuubiza.+
6 “Kale mubeerenga bavumu nnyo musobole okukwata n’okukolera ku ebyo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky’Amateeka ga Musa,+ nga temugavaako kudda ku ddyo oba ku kkono,+ 7 era nga temwetabika na mawanga gano+ agasigaddewo mu mmwe. Temukoowoolanga mannya ga bakatonda baabwe+ wadde okulayira mu mannya gaabwe, era temubaweerezanga wadde okubavunnamira.+ 8 Naye munywerere ku Yakuwa Katonda wammwe,+ nga bwe mubadde mukola okutuusa leero. 9 Yakuwa ajja kugoba mu maaso gammwe+ amawanga amanene era ag’amaanyi, kubanga tewali muntu n’omu asobodde kuyimirira mu maaso gammwe n’okutuusa leero.+ 10 Omusajja omu bumu bw’ati ajja kugoba abantu lukumi,+ kubanga Yakuwa Katonda wammwe y’abalwanirira,+ nga bwe yabasuubiza.+ 11 Kale mwekuumenga+ mwagalenga Yakuwa Katonda wammwe.+
12 “Naye bwe munaava ku Katonda ne mwegatta n’ab’amawanga agasigaddewo mu mmwe,+ ne mufumbiriganwa nabo,+ ne mukolagana nabo, era nabo ne bakolagana nammwe, 13 mukimanye nti Yakuwa Katonda wammwe tajja kweyongera kugobamu mawanga ago ku lwammwe.+ Ganaabanga gye muli ng’omutego, ng’ekyambika, era ng’embooko ezibakuba mu mbiriizi+ era ng’amaggwa mu maaso gammwe, okutuusa lwe mulizikirira ne muggwaawo mu nsi eno ennungi Yakuwa Katonda wammwe gy’abawadde.
14 “Kaakano nnaatera okufa, era mukimanyi bulungi nti tewali kigambo kyonna ku bisuubizo byonna ebirungi Yakuwa Katonda wammwe bye yabasuubiza ekitatuukiridde. Byonna bituukiridde gye muli. Tewali na kimu kitatuukiridde.+ 15 Naye ng’ebisuubizo byonna ebirungi Yakuwa Katonda wammwe bye yabasuubiza bwe bituukiridde gye muli,+ bw’atyo Yakuwa bw’anaabaleetako n’ebintu ebibi byonna bye yabasuubiza, era ajja kubasaanyaawo mu nsi eno ennungi Yakuwa Katonda wammwe gy’abawadde.+ 16 Bwe munaamenya endagaano Yakuwa Katonda wammwe gye yabalagira okukuuma, era ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala, ne mubavunnamira, obusungu bwa Yakuwa bujja kubabuubuukira,+ era mujja kusaanawo mangu mu nsi ennungi gy’abawadde.”+