Ekyamateeka
27 Awo Musa awamu n’abakadde ba Isirayiri ne bayimirira mu maaso g’abantu. Musa n’agamba nti: “Mukwatenga ebiragiro byonna bye mbawa leero. 2 Ku lunaku lwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, osimbanga amayinja amanene n’ogasiigako ennoni.+ 3 Era ogawandiikangako ebigambo byonna eby’Amateeka gano ng’omaze okusomoka, osobole okuyingira mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, nga Yakuwa Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.+ 4 Bwe mulimala okusomoka Yoludaani, musimbanga amayinja gano ku Lusozi Ebali+ ne mugasiiga ennoni, nga bwe mbalagira leero. 5 Era Yakuwa Katonda wo omuzimbiranga eyo ekyoto, ekyoto eky’amayinja. Togayisangako kintu kya kyuma.+ 6 Ekyoto kya Yakuwa Katonda wo okizimbisanga amayinja agatali mateme, era n’owaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Yakuwa Katonda wo ku kyoto ekyo. 7 Onoowaayo ssaddaaka ez’emirembe+ n’oziriira eyo,+ era n’osanyukira mu maaso ga Yakuwa Katonda wo.+ 8 Ku mayinja owandiikangako ebigambo byonna eby’Amateeka gano+ mu ngeri etegeerekeka obulungi.”
9 Awo Musa ne bakabona Abaleevi ne boogera ne Isirayiri yonna ne bagamba nti: “Ggwe Isirayiri, sirika owulirize. Leero ofuuse ggwanga lya Yakuwa Katonda wo.+ 10 Wulirizanga eddoboozi lya Yakuwa Katonda wo era okolerenga ku biragiro bye+ n’amateeka ge bye nkulagira leero.”
11 Ku lunaku olwo Musa n’alagira abantu nti: 12 “Bwe muliba mumaze okusomoka Yoludaani, bino bye bika ebiriyimirira ku Lusozi Gerizimu+ okuwa abantu omukisa: Simiyoni, Leevi, Yuda, Isakaali, Yusufu, ne Benyamini. 13 Ate bino bye biriyimirira ku Lusozi Ebali+ okulangirira ebikolimo: Lewubeeni, Gaadi, Aseri, Zebbulooni, Ddaani, ne Nafutaali. 14 Abaleevi balyogera n’eddoboozi ery’omwanguka eri abantu ba Isirayiri bonna ne babagamba nti:+
15 “‘Omuntu akola ekifaananyi ekyole+ oba ekifaananyi eky’ekyuma,*+ ekintu eky’omuzizo eri Yakuwa,+ ekyakolebwa n’emikono gy’omukozi,* n’akikweka, akolimirwe.’ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’*)
16 “‘Omuntu anyooma kitaawe oba nnyina, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)
17 “‘Omuntu ajjulula obubonero obulamba ensalosalo ya muliraanwa we, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)
18 “‘Omuntu awabya muzibe okumuggya mu kkubo ettuufu, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)
19 “‘Omuntu akyamya ensala y’omusango+ gw’omugwira oba ogw’omwana atalina kitaawe* oba ogwa nnamwandu,+ akolimirwe.’ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)
20 “‘Omuntu eyeebaka ne muka kitaawe, akolimirwe, kubanga aba aweebudde kitaawe.’*+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)
21 “‘Omuntu eyeebaka n’ensolo yonna, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)
22 “‘Omuntu eyeebaka ne mwannyina, omwana wa kitaawe oba omwana wa nnyina, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)
23 “‘Omuntu eyeebaka ne maama wa mukazi we, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)
24 “‘Omuntu ateega munne n’amutta, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)
25 “‘Omuntu akkiriza okugulirirwa okutta omuntu atalina musango, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)
26 “‘Omuntu atassa mu nkola bigambo bya Mateeka gano, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)