Ezera
6 Awo Daliyo kabaka n’alagira ne banoonyereza mu materekero* gye baaterekanga ebintu eby’omuwendo mu Babulooni. 2 Omuzingo ne gusangibwa mu kigo ky’Ekubatana, mu ssaza lya Bumeedi, era gwalimu ebigambo bino:
3 “Mu mwaka ogwasooka ogw’obufuzi bwa Kabaka Kuulo, Kabaka Kuulo yawa ekiragiro ekikwata ku nnyumba ya Katonda eyali mu Yerusaalemi:+ ‘Ennyumba eddemu ezimbibwe ebeere ekifo mwe baweerayo ssaddaaka, era emisingi gyayo gizimbibwe; obugulumivu ejja kuba emikono 60* n’obugazi emikono 60,+ 4 ebisenge byayo bijja kuba n’embu ssatu ez’amayinja amanene era n’olubu lumu olw’embaawo;+ ssente ez’okusasulira ebintu ebyo mujja kuziggya mu ggwanika lya kabaka.+ 5 Era ebintu ebya zzaabu n’ebya ffeeza Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi n’abireeta e Babulooni,+ bizzibweyo biteekebwe mu kifo we byali, mu nnyumba ya Katonda.’+
6 “Kale nno, Tattenayi gavana ow’Emitala w’Omugga* ne Sesalubozenaayi ne bannammwe, bagavana abalala ab’Emitala w’Omugga,+ ekifo ekyo mukiveeko. 7 Omulimu gw’okuzimba ennyumba ya Katonda temugutaataaganya. Gavana w’Abayudaaya era n’abakadde b’Abayudaaya bajja kuddamu okuzimba ennyumba ya Katonda mu kifo we yabeeranga. 8 Era ndagidde kye munaakolera abakadde b’Abayudaaya abo basobole okuddamu okuzimba ennyumba ya Katonda: Abasajja abo balina okuweebwa mu bwangu ssente ezeetaagisa, okuva mu ggwanika lya kabaka,+ nga ziggibwa ku musolo ogusoloozebwa Emitala w’Omugga, omulimu guleme kuyimirira.+ 9 Era byonna bye beetaaga—ente ento ennume,+ endiga ennume,+ n’endiga ento+ ez’ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda w’eggulu, n’eŋŋaano,+ n’omunnyo,+ n’omwenge,+ n’amafuta,+ nga bakabona abali mu Yerusaalemi bwe banaabanga bagambye—bibaweebwenga buli lunaku awatali kwosaamu, 10 basobole okuwangayo ebiweebwayo ebisanyusa Katonda w’eggulu era basabirenga kabaka n’abaana be babeere bulungi.+ 11 Era ndagidde nti omuntu yenna anaamenya ekiragiro kino, omuti gujja kuggibwa ku nnyumba ye asitulibwe asibibwe ku gwo,* era ennyumba ye ejja kufuulibwa kaabuyonjo eya lukale.* 12 Katonda eyalonda ekifo ekyo okubeeramu erinnya lye+ k’azikirize kabaka yenna n’abantu abaneetulinkiriza ne bamenya ekiragiro kino ne boonoona ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi. Nze Daliyo nze ndagidde, era kye ndagidde kikolebwe mu bwangu.”
13 Awo Tattenayi gavana ow’Emitala w’Omugga ne Sesalubozenaayi+ ne bannaabwe ne bakolerawo mu bwangu byonna Kabaka Daliyo bye yalagira. 14 Abakadde b’Abayudaaya ne beeyongera okuzimba era omulimu ne gugenda mu maaso,+ nga bazzibwamu amaanyi obunnabbi bwa nnabbi Kaggayi+ ne Zekkaliya+ muzzukulu wa Iddo, era baamaliriza okugizimba nga bakolera ku kiragiro kya Katonda wa Isirayiri+ n’ekya Kuulo+ ne Daliyo+ ne Alutagizerugiizi+ kabaka wa Buperusi. 15 Ennyumba baagimaliriza ku lunaku olw’okusatu olw’omwezi gwa Adali,* mu mwaka ogw’omukaaga ogw’obufuzi bwa Kabaka Daliyo.
16 Awo Abayisirayiri, bakabona, Abaleevi,+ n’abalala abaava mu buwaŋŋanguse ne batongoza* ennyumba ya Katonda nga basanyufu. 17 Mu kutongoza ennyumba ya Katonda, baawaayo ente ennume 100, endiga ennume 200, endiga ento 400, n’embuzi ennume 12 ez’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yonna, ng’omuwendo gw’ebika bya Isirayiri bwe gwali.+ 18 Baalonda bakabona okusinziira ku bibinja byabwe n’Abaleevi okusinziira ku bibinja byabwe okuweereza Katonda mu Yerusaalemi,+ nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa.+
19 Awo abaava mu buwaŋŋanguse ne bakwata embaga ey’Okuyitako ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogusooka.+ 20 Bakabona bonna n’Abaleevi baali balongoofu olw’okuba bonna baali beerongoosezza,+ bwe batyo ne batta ensolo ey’embaga ey’Okuyitako ku lw’abo bonna abaava mu buwaŋŋanguse ne ku lwa bakabona bannaabwe ne ku lwabwe. 21 Abayisirayiri abaali bakomyewo okuva mu buwaŋŋanguse ne bagirya nga bali wamu n’abo bonna abaali baleseeyo obutali bulongoofu bw’amawanga ag’omu nsi era abaali babeegasseeko mu kusinza* Yakuwa Katonda wa Isirayiri.+ 22 Baakwata n’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse+ okumala ennaku musanvu nga basanyufu, kubanga Yakuwa yali abaleetedde okusanyuka, era yali aleetedde omutima gwa kabaka wa Bwasuli okubakwatirwa ekisa+ n’abawagira* mu mulimu gw’ennyumba ya Katonda ow’amazima, Katonda wa Isirayiri.