1 Bassekabaka
4 Kabaka Sulemaani yafuga Isirayiri yonna.+ 2 Bano be baali abakungu be:* Azaliya mutabani wa Zadooki+ ye yali kabona; 3 Erikolefu ne Akiya batabani ba Sisa be baali abawandiisi;+ Yekosafaati+ mutabani wa Akirudi ye yawandiikanga ebyabangawo; 4 Benaya+ mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w’eggye; Zadooki ne Abiyasaali+ baali bakabona; 5 Azaliya mutabani wa Nasani+ ye yali akulira abaami; Zabudi mutabani wa Nasani yali kabona era nga mukwano gwa* kabaka;+ 6 Akisaali ye yali akulira olubiri; era Adoniraamu+ mutabani wa Abuda ye yali akulira abaakolanga emirimu egy’obuwaze.+
7 Sulemaani yalina abaami 12 abaalina obuvunaanyizibwa ku Isirayiri yonna, abaaleeteranga kabaka n’ab’omu nnyumba ye emmere. Buli omu ku bo yalinanga obuvunaanyizibwa obw’okuleeta emmere okumala omwezi gumu mu mwaka.+ 8 Abaami abo be bano: Mutabani wa Kuli ye yali atwala ekitundu kya Efulayimu eky’ensozi; 9 mutabani wa Dekeri ye yali atwala Makazi ne Saalubimu+ ne Besu-semesi ne Eronu-besu-kanani; 10 mutabani wa Kesedi ye yali atwala Alubbosi (yalina Soko n’ekitundu kyonna eky’e Keferi); 11 mutabani wa Abinadaabu ye yali atwala obusozi bw’e Doli bwonna (yawasa Tafasi muwala wa Sulemaani); 12 Bbaana mutabani wa Akirudi ye yali atwala Taanaki ne Megiddo+ n’ekitundu kya Besu-seyani+ kyonna, ekiri okumpi n’ekitundu ky’e Zalesani, eky’emmanga wa Yezuleeri, okuva e Besu-seyani okutuuka e Aberu-mekola n’okutuukira ddala mu kitundu ky’e Yokumeyamu;+ 13 mutabani wa Geberi ye yali atwala Lamosi-gireyaadi+ (yalina obubuga obutono obwa Yayiri+ mutabani wa Manase obuli e Gireyaadi;+ yalina n’ekitundu ky’e Alugobu+ ekiri mu Basani:+ ebibuga ebinene 60 ebyaliko bbugwe n’ebisiba eby’ekikomo); 14 Akinadaabu mutabani wa Iddo ye yali atwala Makanayimu;+ 15 Akimaazi ye yali atwala Nafutaali (yawasa muwala wa Sulemaani ayitibwa Basemasi); 16 Bbaana mutabani wa Kusaayi ye yali atwala Aseri ne Beyalosi; 17 Yekosafaati mutabani wa Paluwa ye yali atwala Isakaali; 18 Simeeyi+ mutabani wa Ela ye yali atwala Benyamini;+ 19 Geberi mutabani wa Wuli ye yali atwala ekitundu ky’e Gireyaadi,+ ensi ya Sikoni+ kabaka w’Abaamoli, n’ensi ya Ogi+ kabaka wa Basani, era waabangawo omwami omu eyakuliranga abaami abalala bonna.
20 Abantu b’omu Yuda ne Isirayiri baali bangi nnyo ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja;+ baalyanga, ne banywa, era ne basanyuka.+
21 Sulemaani yali afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga*+ okutuuka ku nsi y’Abafirisuuti n’okutuukira ddala ku nsalo ya Misiri. Abantu b’omu bitundu ebyo baawanga Sulemaani omusolo, era baamuweerezanga ekiseera kyonna kye yamala nga mulamu.+
22 Eby’okulya ebyabanga byetaagibwa mu lubiri lwa Sulemaani buli lunaku byabanga koro 30* ez’obuwunga obutaliimu mpulunguse ne koro 60 ez’obuwunga obwa bulijjo, 23 ente 10 engevvu, ente 20 ez’omu ddundiro, n’endiga 100, nga tobaliddeeko mpeewo, njaza, ngabi, n’ebinyonyi ebigevvu. 24 Yali afuga ekitundu kyonna ku ludda luno olw’Omugga,*+ okuva e Tifusa okutuuka e Gaaza,+ nga mw’otwalidde ne bakabaka bonna abaali ku ludda luno olw’Omugga; waaliwo emirembe mu bitundu byonna eby’obwakabaka bwe.+ 25 Ekiseera kyonna eky’obulamu bwa Sulemaani, abantu b’omu Yuda ne Isirayiri baali mu mirembe, nga buli muntu ali wansi w’omuzabbibu gwe n’omutiini gwe, okuva e Ddaani okutuuka e Beeru-seba.
26 Sulemaani yalina ebiyumba 4,000* eby’embalaasi ezaasikanga amagaali ge, n’embalaasi* 12,000.+
27 Abaami abo be baaleeteranga Kabaka Sulemaani emmere awamu n’abo bonna abaalyanga ku mmeeza ye. Buli omu yalina omwezi gwe ogwamuweebwa, era baakakasanga nti tewabaawo kintu na kimu ekibulawo.+ 28 Baatwalanga ne ssayiri n’essubi eby’embalaasi, nga mw’otwalidde n’embalaasi ezisika amagaali, yonna gye byabanga byetaagibwa, nga buli omu bwe yabanga alagiddwa okukola.
29 Katonda yawa Sulemaani amagezi mayitirivu n’okutegeera kungi, era yateeka mu mutima gwe amagezi mangi nnyo ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja.+ 30 Amagezi ga Sulemaani gaasukkuluma ku g’abantu bonna ab’Ebuvanjuba era n’Abamisiri.+ 31 Yali wa magezi okusinga abantu bonna; yali asinga ne Esani+ Omwezulaaki ne Kemani+ ne Kalukoli+ ne Daluda batabani ba Makoli; ettutumu lye lyabuna mu mawanga gonna ageetooloddewo.+ 32 Yayiiya* engero 3,000+ era ennyimba+ ze zaali 1,005. 33 Ate era yayogeranga ku miti, okuva ku ntolokyo ez’omu Lebanooni okutuuka ku buti bwa ezobu+ obumera ku bisenge; era yayogeranga ku nsolo+ ne ku binyonyi*+ ne ku byewalula*+ ne ku byennyanja. 34 Abantu baavanga mu mawanga gonna ne bajja okuwulira amagezi ga Sulemaani, nga mw’otwalidde ne bakabaka okuva mu bitundu byonna eby’ensi abaali bawulidde ku magezi ge.+