Olubereberye
41 Bwe waayitawo emyaka ebiri, Falaawo n’aloota+ ng’ayimiridde ku mabbali g’Omugga Kiyira, 2 ng’alaba mu Mugga Kiyira muvaamu ente musanvu ezirabika obulungi era engevvu, ne ziriira omuddo okumpi n’Omugga Kiyira.+ 3 Ate oluvannyuma n’alaba nga mu Mugga Kiyira muvaamu ente endala musanvu nga zirabika bubi era nga nkovvu, ne ziyimirira okumpi n’ente engevvu ezaali ku mabbali g’Omugga. 4 Ente ezaali zirabika obubi era enkovvu ne zitandika okulya ente omusanvu ezaali zirabika obulungi era engevvu. Awo Falaawo n’azuukuka.
5 N’addawo ne yeebaka era n’aloota omulundi ogw’okubiri. N’alaba ebirimba by’eŋŋaano* musanvu nga bimera ku kikolo kimu nga bijjuvu era nga birungi nnyo.+ 6 Ate era oluvannyuma n’alaba ebirimba ebirala musanvu nga bimera; byali bitono era nga bibabuddwa empewo eva ebuvanjuba. 7 Ebirimba by’eŋŋaano ebitono ne bitandika okumira ebirimba by’eŋŋaano omusanvu ebijjuvu era ebirungi ennyo. Awo Falaawo n’azuukuka, era n’akitegeera nti abadde aloota.
8 Naye ku makya Falaawo yali mweraliikirivu. Bw’atyo n’atumya bakabona bonna ab’omu Misiri abaakolanga eby’obufumu n’abagezigezi baamu bonna n’ababuulira ebirooto bye. Naye tewaali n’omu yali ayinza kubuulira Falaawo makulu gaabyo.
9 Awo omusenero omukulu n’agamba Falaawo nti: “Olwa leero ka njatule ebibi byange. 10 Ai Falaawo, wasunguwalira abaweereza bo, nze n’omufumbiro omukulu n’otusindika mu kkomera ery’ennyumba y’omukulu w’abakuumi.+ 11 Oluvannyuma ffembi twaloota ebirooto mu kiro kimu. Buli omu yaloota ekirooto kye nga kirina amakulu ga njawulo.+ 12 Era eyo twaliyo n’omuvubuka Omwebbulaniya omuweereza w’omukulu w’abakuumi.+ Bwe twamubuulira ebirooto byaffe,+ n’atubuulira amakulu ga buli kirooto. 13 Era byali ddala nga bwe yatugamba. Nze nnakomezebwawo ku mulimu gwange, naye ye munnange n’awanikibwa.”+
14 Awo Falaawo n’atumya Yusufu,+ ne bamuleeta mangu okuva mu kkomera.*+ Yusufu ne yeemwa, n’akyusa engoye ze, n’agenda eri Falaawo. 15 Falaawo n’agamba Yusufu nti: “Nnaloose ekirooto naye tewali ayinza kumbuulira makulu gaakyo. Mpulidde nga bakwogerako nti oyinza okuwulira ekirooto n’otegeeza amakulu gaakyo.”+ 16 Yusufu n’addamu Falaawo nti: “Si nze, naye Katonda y’anaategeeza Falaawo obubaka obulungi.”+
17 Falaawo n’agamba Yusufu nti: “Mu kirooto kyange nnabadde nnyimiridde ku mabbali g’Omugga Kiyira, 18 ente musanvu engevvu era ezirabika obulungi ne ziva mu Mugga Kiyira, ne zitandika okuliira omuddo okumpi n’omugga.+ 19 Ate oluvannyuma ne muvaamu ente endala musanvu nga zirabika bubi nnyo era nga nkovvu. Sirabangako nte zirabika bubi ng’ezo mu nsi ya Misiri yonna. 20 Ente enkovvu era embi ne zitandika okulya ente ziri omusanvu engevvu ezaasoose. 21 Naye bwe zaamaze okuzirya kyabadde tekiyinza kumanyika obanga ziziridde, kubanga zaasigadde zirabika bubi nga bwe zaabadde mu kusooka. Awo ne nzuukuka.
22 “Oluvannyuma nnalabye mu kirooto kyange ebirimba by’eŋŋaano musanvu nga bimera ku kikolo kimu, nga bijjuvu era nga birungi nnyo.+ 23 Era waabaddewo ebirimba by’eŋŋaano musanvu ebyameze okuddirira biri, nga biwotofu, nga bitono, era nga bibabuddwa empewo eva ebuvanjuba. 24 Ebirimba by’eŋŋaano ebitono ne bitandika okumira ebirimba by’eŋŋaano omusanvu ebirungi ennyo. Ebintu bino mbibuulidde bakabona abakola eby’obufumu+ naye tewali n’omu asobodde kubinnyinnyonnyola.”+
25 Awo Yusufu n’agamba Falaawo nti: “Ebirooto bya Falaawo birina amakulu ge gamu. Katonda ow’amazima by’ajja okukola abibuulidde Falaawo.+ 26 Ente omusanvu ennungi gye myaka musanvu. Ebirimba by’eŋŋaano omusanvu ebirungi nagyo myaka musanvu. Ebirooto birina amakulu ge gamu. 27 Ente omusanvu enkovvu era embi ezaaziddiridde gye myaka musanvu; n’ebirimba omusanvu ebitaabaddemu mpeke era nga bibabuddwa empewo eva ebuvanjuba gijja kuba emyaka musanvu egy’enjala. 28 Nga bwe ŋŋambye Falaawo, Katonda ow’amazima by’ajja okukola abiraze Falaawo.
29 “Wagenda kubaawo emyaka musanvu egy’ekyengera mu nsi ya Misiri yonna. 30 Naye egyo bwe giriggwaako waliddawo emyaka musanvu egy’enjala. Ekyengera ky’omu nsi ya Misiri kiryerabirwa, era n’enjala eriba ya maanyi nnyo mu nsi.+ 31 Abantu tebalijjukira nti waali wabaddewo ekyengera mu nsi olw’enjala erikiddirira, kubanga eriba ya maanyi nnyo. 32 Ekirooto kyaddiddwamu emirundi ebiri eri Falaawo olw’okuba Katonda ow’amazima amaliridde okukola ekintu ekyo era mangu Katonda ow’amazima ajja kukituukiriza.
33 “Kale kaakano ai Falaawo, noonya omusajja omwegendereza era ow’amagezi omuwe obuvunaanyizibwa ku nsi ya Misiri. 34 Falaawo alonde abakungu bakuŋŋaanye kimu kya kutaano eky’emmere ey’omu nsi ya Misiri mu myaka omusanvu egy’ekyengera.+ 35 Bakuŋŋaanye emmere yonna mu myaka gino egy’ekyengera egijja, bagitereke mu bibuga bagikuume;+ emmere* eyo ejja kuba ya Falaawo. 36 Emmere eyo y’eribeesaawo ensi mu myaka omusanvu egy’enjala eribaawo mu nsi ya Misiri, ensi ereme okuggwaawo olw’enjala.”+
37 Ekirowoozo ekyo ne kirabika nga kirungi eri Falaawo n’abaweereza be bonna. 38 Awo Falaawo n’agamba abaweereza be nti: “Ddala eriyo omusajja omulala aliko omwoyo gwa Katonda ng’ono?” 39 Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti: “Okuva Katonda bw’akusobozesezza okumanya bino byonna, tewali muntu mwegendereza era wa magezi nga ggwe. 40 Ggwe ojja okuba n’obuvunaanyizibwa ku nnyumba yange, era abantu bange bonna bajja kukugondera mu buli kimu.+ Naye olw’okuba nze kabaka,* nze nnaaba nkusinga obuyinza.” 41 Era Falaawo n’ayongera n’agamba Yusufu nti: “Laba, nkuwadde obuyinza ku nsi ya Misiri yonna.”+ 42 Awo Falaawo n’aggya ku ngalo empeta ye eramba n’aginaanika Yusufu ku ngalo, n’amwambaza ebyambalo ebirungi, n’amwambaza n’omukuufu ogwa zzaabu mu bulago. 43 Ate era yamuwa eggaali lye ery’okubiri atambulirengamu, abantu bamuwenga ekitiibwa nga boogerera waggulu nti: “Avuleki!”* bw’atyo n’amuwa obuyinza ku nsi yonna eya Misiri.
44 Falaawo n’agamba Yusufu nti: “Nze Falaawo, naye tewali muntu ajjanga kukola kintu kyonna* mu nsi ya Misiri yonna nga tomuwadde lukusa.”+ 45 Oluvannyuma lw’ebyo, Falaawo n’atuuma Yusufu erinnya Zafenasu-paneya era n’amuwa Asenaasi+ muwala wa Potifera kabona w’e Oni* okuba mukazi we. Awo Yusufu n’atandika okutalaaga ensi ya Misiri.+ 46 Yusufu yali aweza emyaka 30+ we yayimiririra mu maaso ga* Falaawo kabaka wa Misiri.
Yusufu n’ava mu maaso ga Falaawo n’atalaaga ensi ya Misiri yonna. 47 Mu myaka omusanvu egy’ekyengera ensi yabala emmere mu bungi. 48 Yusufu n’akuŋŋaanya emmere yonna ey’emyaka omusanvu egy’ekyengera mu nsi ya Misiri, n’agiteeka mu bibuga. N’aterekanga mu buli kibuga emmere eyavanga mu nnimiro ezikyetoolodde. 49 Yusufu ne yeeyongera okukuŋŋanya emmere nnyingi nnyo, ng’omusenyu gw’ennyanja, era oluvannyuma n’alekera awo okugipima kubanga yali nnyingi nnyo.
50 Ng’omwaka gw’enjala tegunnatuuka, Asenaasi muwala wa Potifera kabona w’e Oni* yazaalira Yusufu abaana babiri ab’obulenzi.+ 51 Omubereberye Yusufu yamutuuma Manase,*+ kubanga yagamba nti: “Katonda anneerabizza ebizibu byange byonna n’ennyumba ya Kitange yonna.” 52 Ow’okubiri n’amutuuma Efulayimu,*+ kubanga yagamba nti: “Katonda ampadde abaana mu nsi mwe ndabidde ennaku.”+
53 Awo emyaka omusanvu egy’ekyengera ekyaliwo mu nsi ya Misiri ne giggwaako,+ 54 emyaka omusanvu egy’enjala ne gitandika, nga Yusufu bwe yagamba.+ Enjala n’egwa mu nsi zonna, kyokka mu nsi yonna eya Misiri mwo mwalimu emmere.+ 55 Oluvannyuma ensi yonna eya Misiri yagwaamu enjala, abantu ne batandika okukaabirira Falaawo abawe emmere.+ Falaawo n’agamba Abamisiri bonna nti: “Mugende eri Yusufu, era mukole kyonna ky’anaabagamba.”+ 56 Ensi yonna ne yeeyongera okubaamu enjala.+ Yusufu n’atandika okuguza Abamisiri emmere eyali eterekeddwa mu mawanika,+ kubanga enjala yali ya maanyi nnyo mu nsi ya Misiri. 57 Ate era, abantu okuva mu nsi zonna ne bajjanga e Misiri okugula ku Yusufu emmere kubanga enjala yali ya maanyi nnyo mu nsi yonna.+