Ekyabalamuzi
11 Yefusa+ Omugireyaadi yali mulwanyi wa maanyi. Yali mwana wa mukazi malaaya, era Gireyaadi ye yali kitaawe wa Yefusa. 2 Muka Gireyaadi naye yamuzaalira abaana ab’obulenzi. Abaana ba mukazi we bwe baakula ne bagoba Yefusa ne bamugamba nti: “Tojja kufuna busika mu nnyumba ya kitaffe kubanga oli mwana wa mukazi mulala.” 3 Bw’atyo Yefusa n’adduka baganda be n’agenda n’abeera mu nsi y’e Tobu. Abasajja abataalina bya kukola ne bamwegattako ne bamugoberera.
4 Bwe waayitawo ekiseera, Abaamoni ne balwanyisa Isirayiri.+ 5 Era Abaamoni bwe baalwanyisa Isirayiri, amangu ago abakadde b’omu Gireyaadi ne bagenda okunona Yefusa mu nsi y’e Tobu. 6 Ne bagamba Yefusa nti: “Jjangu obeere omuduumizi waffe tulwanyise Abaamoni.” 7 Naye Yefusa n’abaddamu nti: “Si mmwe mwankyawa ennyo ne mungoba mu nnyumba ya kitange?+ Kati lwaki muzze gye ndi nga muli mu buzibu?” 8 Awo abakadde b’omu Gireyaadi ne bamugamba nti: “Eyo ye nsonga lwaki kaakano tuzze gy’oli. Bw’onoogenda naffe ne tulwanyisa Abaamoni, ojja kufuuka mukulembeze waffe akulira abantu b’omu Gireyaadi bonna.”+ 9 Awo Yefusa n’agamba abakadde b’omu Gireyaadi nti: “Bwe muba nga munzizaayo olw’okulwanyisa Abaamoni era Yakuwa n’ansobozesa okubawangula, nja kubeera mukulembeze wammwe.” 10 Abakadde b’omu Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti: “Yakuwa k’abeere omujulirwa* wakati waffe bwe tutaakole nga bw’oyogedde.” 11 Awo Yefusa n’agenda n’abakadde b’omu Gireyaadi, abantu ne bamufuula omukulembeze waabwe era omuduumizi waabwe. Yefusa n’addamu okwogera ebigambo bye byonna mu maaso ga Yakuwa e Mizupa.+
12 Yefusa n’atuma ababaka eri kabaka w’Abaamoni,+ n’amugamba nti: “Lwaki onnumbye mu nsi yange okunnwanyisa?” 13 Kabaka w’Abaamoni n’agamba ababaka ba Yefusa nti: “Kubanga Isirayiri yatwala ensi yange bwe baava e Misiri,+ okuva ku Alunoni+ okutuuka ku Yabboki n’okutuukira ddala ku Yoludaani.+ Kaakano ginzirize mu mirembe.” 14 Naye Yefusa n’addamu n’atuma ababaka eri kabaka w’Abaamoni, 15 bamugambe nti:
“Yefusa bw’ati bw’agambye, ‘Isirayiri teyatwala nsi y’Abamowaabu+ na nsi y’Abaamoni,+ 16 kubanga Abayisirayiri bwe baava e Misiri, baayita mu ddungu ne batuuka ku Nnyanja Emmyufu,+ ne bagguka e Kadesi.+ 17 Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri kabaka wa Edomu+ ng’agamba nti: “Tukkirize tuyite mu nsi yo,” naye kabaka wa Edomu teyawuliriza. Ne kabaka wa Mowaabu+ baamuweereza obubaka, naye teyakkiriza. Awo Abayisirayiri ne basigala mu Kadesi.+ 18 Bwe beeyongerayo mu ddungu, baayita bbali w’ensi ya Edomu+ n’ensi ya Mowaabu ne bagenda ebuvanjuba w’ensi ya Mowaabu+ ne basiisira mu kitundu kya Alunoni; naye tebaasala nsalo ya Mowaabu,+ kubanga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu.
19 “‘Oluvannyuma lw’ebyo, Isirayiri yatuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abaamoli, kabaka wa Kesuboni, n’amugamba nti: “Tukusaba otukkirize tuyite mu nsi yo tugende ewaffe.”+ 20 Naye Sikoni teyeesiga Isirayiri kuyita mu nsi ye, era Sikoni yakuŋŋaanya abantu be bonna ne basiisira e Yakazi ne balwanyisa Isirayiri.+ 21 Awo Yakuwa Katonda wa Isirayiri n’awaayo Sikoni n’abantu be bonna mu mukono gwa Isirayiri, ne babatta era Isirayiri n’etwala ensi yonna ey’Abaamoli abaali babeera mu nsi eyo.+ 22 Bwe batyo ne batwala ensi yonna ey’Abaamoli okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki, n’okuva mu ddungu okutuuka ku Yoludaani.+
23 “‘Yakuwa Katonda wa Isirayiri ye yagoba Abaamoli mu maaso g’abantu be Isirayiri,+ kati ate ggwe oyagala kubagobamu? 24 Ekyo kyonna katonda wo Kemosi+ ky’akuwa si ky’otwala? Bwe kityo, buli yenna Yakuwa Katonda waffe gwe yagoba mu maaso gaffe gwe tujja okugobamu.+ 25 Ggwe osinga Balaki+ mutabani wa Zipoli, kabaka wa Mowaabu? Yawakanyaako Isirayiri era yabalwanyisaako? 26 Isirayiri bwe yali ebeera mu Kesuboni n’obubuga obukyetoolodde,+ ne mu Aloweri n’obubuga obukyetoolodde, ne mu bibuga byonna ebiri ku mbalama za Alunoni okumala emyaka 300, lwaki temwabibaggyaako mu kiseera ekyo?+ 27 Nze sirina kibi kye nkukoze, naye ggwe okola kikyamu okunnumba. Yakuwa Omulamuzi+ k’alamule leero wakati w’abantu ba Isirayiri n’abantu ba Amoni.’”
28 Naye kabaka w’Abaamoni teyawuliriza bubaka Yefusa bwe yamuweereza.
29 Awo omwoyo gwa Yakuwa ne gujja ku Yefusa,+ n’ayita mu Gireyaadi ne Manase okugenda e Mizupe eky’e Gireyaadi,+ era n’ava e Mizupe eky’e Gireyaadi n’agenda eri Abaamoni.
30 Awo Yefusa ne yeeyama+ eri Yakuwa n’agamba nti: “Bw’onoowaayo Abaamoni mu mukono gwange, 31 oyo yenna anaafuluma mu mulyango gw’ennyumba yange okunsisinkana nga nkomyewo mirembe nga nva okulwana n’Abaamoni, anaaba wa Yakuwa,+ era nja kumuwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa.”+
32 Awo Yefusa n’agenda okulwanyisa Abaamoni, era Yakuwa n’abawaayo mu mukono gwe. 33 N’atta bangi nnyo, okuva mu Aloweri okutuuka e Minnisi (ebibuga 20) n’okutuukira ddala e Aberu-keramimu. Bwe batyo Abaamoni ne bawangulwa mu maaso g’Abayisirayiri.
34 Oluvannyuma Yefusa yakomawo mu maka ge e Mizupa,+ era laba! muwala we n’ajja okumusisinkana ng’akuba akagoma era ng’azina. Ye yali omwana we yekka. Teyalinaayo mwana wa bulenzi oba wa buwala okuggyako oyo. 35 Bwe yamulaba n’ayuza ebyambalo bye n’agamba nti: “Zinsanze, muwala wange! Onnakuwazza nnyo, kubanga ofuuse oyo gwe ngobye. Nnayasamya akamwa kange eri Yakuwa era siyinza kukyusa.”+
36 Naye omuwala n’amugamba nti: “Taata, bw’oba nga weeyama eri Yakuwa, nkola nga bwe wasuubiza,+ okuva bwe kiri nti Yakuwa awooledde eggwanga ku balabe bo, Abaamoni.” 37 Era n’agamba kitaawe nti: “Kino kye kiba kinkolerwa: Ndeka mbeere nzekka okumala emyezi ebiri, era ndeka ŋŋende mu nsozi ne bawala bannange nkaabe olw’okusigala nga ndi mbeerera.”*
38 Awo n’amugamba nti: “Genda!” Bw’atyo n’amuleka agende okumala emyezi ebiri, n’agenda ne bawala banne ku nsozi okukaaba olw’okusigala nga mbereera. 39 Emyezi ebiri bwe gyaggwaako n’akomawo eri kitaawe, era kitaawe n’atuukiriza obweyamo bwe yali yeeyamye obukwata ku muwala we.+ Omuwala oyo teyeegattako na musajja yenna. Era mu Isirayiri ne wabangawo empisa eno:* 40 Buli mwaka abawala Abayisirayiri baagendanga okusiima muwala wa Yefusa Omugireyaadi, ennaku nnya mu mwaka.