Isaaya
2 Bino bye bikwata ku Yuda ne Yerusaalemi, Isaaya mutabani wa Amozi bye yalaba:+
Olusozi lw’ennyumba ya Yakuwa
Lulinywezebwa waggulu w’ensozi,+
Era luligulumizibwa okusinga obusozi,
Era amawanga gonna galyekuluumululira okwo.+
3 Abantu okuva mu mawanga mangi baligenda ne bagamba nti:
“Mujje twambuke ku lusozi lwa Yakuwa,
Ku nnyumba ya Katonda wa Yakobo.+
Anaatuyigiriza amakubo ge,
Era tunaatambulira mu mpenda ze.”+
4 Aliramula amawanga
Era alitereeza ensonga ezikwata ku bantu b’omu mawanga mangi.
Ebitala byabwe balibikolamu enkumbi
N’amafumu gaabwe baligakolamu ebiwabyo.+
Eggwanga teririyimusa kitala eri ggwanga linnaalyo,
Era tebaliyiga kulwana nate.+
5 Mmwe ennyumba ya Yakobo,
Mujje tutambulire mu kitangaala kya Yakuwa.+
6 Olese abantu bo, ennyumba ya Yakobo,+
Kubanga bakoppye ebintu bingi okuva Ebuvanjuba;
Bakola eby’obufumu+ ng’Abafirisuuti,
Era balina abaana bangi nnyo ab’abagwira.
7 Ensi yaabwe ejjudde ffeeza ne zzaabu,
Era eby’obugagga byabwe tebiriiko kkomo.
Ensi yaabwe ejjudde embalaasi,
N’amagaali gaabwe tegaliiko kkomo.+
8 Ensi yaabwe ejjudde bakatonda abatalina mugaso.+
Bavunnamira omulimu gw’emikono gyabwe,
Bavunnamira ebyo engalo zaabwe bye zaakola.
9 Bw’atyo omuntu yessa wansi, n’afeebezebwa,
Era tosobola kubasonyiwa.
10 Yingira mu lwazi era weekweke mu nfuufu
Olw’obusungu bwa Yakuwa obw’entiisa
N’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi.+
Yakuwa yekka y’aligulumizibwa ku lunaku olwo.
12 Olunaku olwo luliba lunaku lwa Yakuwa ow’eggye.+
Lulituuka ku buli ow’amalala era eyeegulumiza,
Lulituuka ku buli omu, k’abe oyo agulumizibwa oba oyo owa wansi,+
13 Lulituuka ku miti gy’entolokyo gyonna egy’e Lebanooni emiwanvu era emigulumivu,
Lulituuka ku miyovu gyonna eminene egy’e Basani,
14 Lulituuka ku nsozi zonna engulumivu
Ne ku busozi bwonna obuwanvu,
15 Lulituuka ku bigo byonna ebiwanvu ne ku buli bbugwe ow’amaanyi,
16 Lulituuka ku byombo byonna eby’e Talusiisi+
Ne ku maato gonna amalungi.
17 Omuntu ow’amalala alissibwa wansi,
N’abeegulumiza balikutama.*
Yakuwa yekka y’aligulumizibwa ku lunaku olwo.
18 Bakatonda abatalina mugaso baliggweerawo ddala.+
19 Era abantu baliyingira mu mpuku ez’omu njazi,
Ne mu binnya wansi mu ttaka+
Olw’obusungu bwa Yakuwa obw’entiisa
N’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi,+
Bw’alisituka n’aleetera ensi okukankana olw’entiisa.
20 Ku lunaku olwo abantu balitwala bakatonda baabwe aba ffeeza ne zzaabu abatalina mugaso
Be baakola babavunnamire
Ne babasuulira emisonso n’obuwundo,+
21 Basobole okuyingira mu bituli ebiri mu njazi
Ne mu mpompogoma ez’omu njazi,
Olw’obusungu bwa Yakuwa obw’entiisa
N’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi,
Bw’alisituka n’aleetera ensi okukankana olw’okutya.
22 Ku lw’obulungi bwammwe, mulekere awo okwesiga omuntu obuntu;
Oyo mukka bukka oguli mu nnyindo ze.*
Agasa ki?