Olubereberye
49 Awo Yakobo n’ayita batabani be n’abagamba nti: “Mukuŋŋaane wamu mbabuulire ebiribatuukako mu nnaku ezisembayo. 2 Mukuŋŋaane muwulirize mmwe batabani ba Yakobo, muwulirize Isirayiri kitammwe.
3 “Lewubeeni,+ ggwe mwana wange omubereberye,+ amaanyi gange era entandikwa y’amaanyi gange ag’okuzaala, ekitiibwa ekisinga era amaanyi agasinga. 4 Olw’obuteefuga ng’amazzi agafuukuuse, tolisukkuluma, kubanga walinnya ku kitanda kya kitaawo.+ Mu kiseera ekyo wayonoona ekitanda kyange. Yakirinnyako!
5 “Simiyoni ne Leevi ba luganda.+ Bakozesa ebitala byabwe okukola ebikolwa eby’obukambwe.+ 6 Siigendenga mu kinywi kyabwe. Ggwe ekitiibwa kyange teweegatanga ku kibiina kyabwe, kubanga mu busungu bwabwe batta abantu,+ era baalemaza ente olw’okwesanyusa obwesanyusa. 7 Obusungu bwabwe bukolimirwe kubanga bwa ttima, n’ekiruyi kyabwe kikolimirwe kubanga kikambwe.+ Ndibasaasaanya mu Yakobo era ndibamansa mu Isirayiri.+
8 “Ate ggwe Yuda+ baganda bo banaakutenderezanga.+ Omukono gwo gunaabeeranga ku nsingo y’abalabe bo.+ Abaana ba kitaawo banaavunnamanga mu maaso go.+ 9 Yuda mwana gwa mpologoma.+ Mwana wange olirya omuyiggo n’oyimuka. Abwamye era ne yeegolola ng’empologoma, era okufaananako empologoma ani ayinza okwetantala okumugolokosa? 10 Ddamula teevenga mu Yuda,+ n’omuggo gw’oyo afuga teguuvenga wakati wa bigere bye, okutuusa Siiro* lw’alijja,+ era abantu balimugondera.+ 11 Alisiba endogoyi ye ku muzabbibu, n’omwana gw’endogoyi ye ku muzabbibu omulungi, n’ayoza engoye ze mu mwenge n’ekyambalo kye mu mubisi gw’ezzabbibu. 12 Amaaso ge mamyufu olw’omwenge, n’amannyo ge meeru olw’amata.
13 “Zebbulooni+ anaabeeranga ku lubalama lw’ennyanja, ku lubalama ebyombo we bisimba:+ era ensalo ze ziryolekera e Sidoni.+
14 “Isakaali+ ndogoyi ya maanyi egalamidde wakati w’emigugu ebiri. 15 Anaalaba nti ekifo ekiwummulirwamu kirungi, era nti n’ensi nnungi. Anaakutamanga okusitula emigugu ku bibegaabega bye era anaakolanga emirimu egy’obuddu.
16 “Ddaani,+ ng’ekimu ku bika bya Isirayiri, anaalamulanga abantu be.+ 17 Ddaani anaabanga musota oguli ku mabbali g’oluguudo, omusota ogw’amayembe oguli ku mabbali g’ekkubo ogubojja ebigere by’embalaasi, agyebagadde n’agiwanukako n’agwa.+ 18 Nnaalindirira obulokozi okuva gy’oli Ai Yakuwa.
19 “Ate ye Gaadi+ ekibinja ky’abazigu kinaamulumbanga, kyokka naye anaakirumbanga ng’akiva ennyuma.+
20 “Emmere* ya Aseri+ eneebanga nnyingi,* era anaavangamu emmere esaanira kabaka.+
21 “Nafutaali+ mpeewo ewenyuka. Ayogera ebigambo ebirungi.+
22 “Yusufu+ lye ttabi ly’omuti ogubala ebibala, omuti ogubala ebibala oguli okumpi n’ensulo z’amazzi, ogusindika amatabi gaagwo ne gabunduka ku kisenge. 23 Abalasi b’obusaale baamulumbanga n’obukambwe ne bamulasa, era baamusibiranga ekiruyi.+ 24 Naye omutego gwe tegwaava mu kifo,+ era emikono gye gyali gya maanyi era nga gikola na bwangu.+ Kino kyava mu mikono gy’oyo ow’amaanyi owa Yakobo, kyava eri omusumba era ejjinja lya Isirayiri. 25 Ava* eri Katonda wa kitaawo, era Katonda anaakuyambanga; ali wamu n’Omuyinza w’Ebintu Byonna, era Katonda anaakuwanga emikisa okuva waggulu mu ggulu n’emikisa okuva wansi mu buziba,+ era anaakuwa abaana bangi n’ebisolo bingi.* 26 Emikisa gya kitaawo girisinga emikisa gy’ensozi ez’olubeerera, era girisinga ebintu ebirungi eby’obusozi obutaggwaawo.+ Emikisa gino ginaabeeranga ku mutwe gwa Yusufu, waggulu ku mutwe gw’oyo eyayawulibwa ku baganda be.+
27 “Benyamini+ anaataagulataagulanga ng’omusege.+ Ku makya anaalya omuyiggo, ate akawungeezi anaagabanya omunyago.”+
28 Bino byonna bye bika bya Isirayiri 12, era ebyo bye bigambo kitaabwe bye yabagamba ng’abawa omukisa. Buli omu yamuwa omukisa ogumugwanira.+
29 Oluvannyuma yabawa ebiragiro bino nti: “Ŋŋenda kugoberera abantu bange.*+ Munziikanga wamu ne bakitange mu mpuku eri mu kibanja kya Efulooni Omukiiti;+ 30 empuku eri mu kibanja ky’e Makupeera ekiri mu maaso ga Mamule mu nsi ya Kanani, ekibanja Ibulayimu kye yagula ku Efulooni Omukiiti okuba ekifo eky’okuziikangamu. 31 Eyo gye baaziika Ibulayimu ne Saala+ mukazi we. Eyo gye baaziika Isaaka+ ne Lebbeeka mukazi we, era eyo gye nnaziika Leeya. 32 Ekibanja ekyo n’empuku erimu byagulibwa ku baana ba Keesi.”+
33 Bw’atyo Yakobo n’amaliriza okuwa batabani be ebiragiro ebyo, n’agalamira ku kitanda kye n’assa ogw’enkomerero n’agoberera abantu be.*+