1 Yokaana
3 Laba okwagala Kitaffe kw’atulaze bwe kuli okungi ennyo,+ ffe okuyitibwa abaana ba Katonda!+ Era tuli baana be. Eyo ye nsonga lwaki ensi tetumanyi+ kubanga naye temumanyi.+ 2 Abaagalwa, kati tuli baana ba Katonda,+ naye kye tuliba tekinnamanyika.+ Naye tumanyi nti bw’alirabisibwa tujja kubeera nga ye, kubanga tujja kumulaba nga bw’ali. 3 Era buli amusuubiriramu yeerongoosa+ era nga n’oyo bw’ali omulongoofu.
4 Buli muntu akola ekibi aba akola eby’obujeemu, era ekibi bwe bujeemu. 5 Era mukimanyi nti yalabisibwa alyoke aggyewo ebibi byaffe+ era mu ye temuli kibi. 6 Buli muntu asigala ng’ali bumu naye teyeeyongera kukola kibi;+ omuntu eyeeyongera okukola ekibi tamulabanga era tamumanyanga. 7 Abaana abato, waleme kubaawo ababuzaabuza; akola eby’obutuukirivu abeera mutuukirivu, ng’oyo naye bw’ali omutuukirivu. 8 Oyo eyeeyongera okukola ekibi ava eri Omulyolyomi, kubanga okuviira ddala ku lubereberye*+ Omulyolyomi abadde akola ebibi. Omwana wa Katonda yalabisibwa asobole okuggyawo* ebikolwa by’Omulyolyomi.+
9 Buli muntu azaalibwa Katonda teyeeyongera kukola kibi,+ kubanga ensigo ya Katonda* emubeeramu era teyeeyongera kukola kibi kubanga yazaalibwa Katonda.+ 10 Abaana ba Katonda n’abaana b’Omulyolyomi balabikira ku kino: Omuntu yenna atakola bya butuukirivu taba mwana wa Katonda, era n’oyo atayagala muganda we.+ 11 Buno bwe bubaka bwe mwawulira okuva ku lubereberye, nti tusaanidde okwagalana;+ 12 tetusaanidde kuba nga Kayini eyali omwana w’omubi n’atta muganda we.+ Kale yamuttira ki? Kubanga ebikolwa bye byali bibi,+ naye ebya muganda we byali bya butuukirivu.+
13 Ab’oluganda, temwewuunya nti ensi tebaagala.+ 14 Tumanyi nti twali tufudde naye kati tuli balamu,+ kubanga twagala baganda baffe.+ Oyo atayagala muganda we asigala mu kufa.+ 15 Buli atayagala muganda we aba mutemu,*+ era mumanyi nti tewali mutemu alina obulamu obutaggwaawo.+ 16 Ku kino kwe tumanyira okwagala, kubanga oyo yawaayo obulamu bwe ku lwaffe;+ era naffe tuvunaanyizibwa okuwaayo obulamu bwaffe ku lwa baganda baffe.+ 17 Naye omuntu yenna aba n’eby’obugagga eby’omu nsi eno, n’alaba muganda we ng’ali mu bwetaavu, kyokka n’atamusaasira, ayinza atya okugamba nti ayagala Katonda?+ 18 Abaana abato, tulemenga okwagala mu bigambo oba mu lulimi,+ wabula mu bikolwa+ ne mu mazima.+
19 Ku kino kwe tujja okumanyira nti tusibuka mu mazima, era tujja kukakasa emitima gyaffe mu maaso ge 20 mu buli kintu emitima gyaffe kye gitusalira omusango, kubanga Katonda asinga emitima gyaffe era amanyi ebintu byonna.+ 21 Abaagalwa, emitima gyaffe bwe giba tegitusalira musango, tusobola okwogera ne Katonda nga tetutya;+ 22 era buli kye tusaba akituwa,+ kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebintu ebimusanyusa. 23 Mazima ddala kino kye kiragiro kye: nti tukkiririze mu linnya ly’Omwana we Yesu Kristo,+ era twagalane+ nga bwe yatulagira. 24 Ate era, oyo akwata ebiragiro bye asigala ali bumu naye, era naye abeera bumu n’oyo;+ era okuyitira mu mwoyo gwe yatuwa, tukimanyi nti ali bumu naffe.+