Olubereberye
7 Oluvannyuma lw’ebyo, Yakuwa n’agamba Nuuwa nti: “Yingira mu lyato n’ab’ennyumba yo bonna, kubanga mu mulembe guno ggwe gwe ndabye ng’oli mutuukirivu mu maaso gange.+ 2 Ku nsolo ennongoofu eza buli kika twalako musanvu musanvu,*+ ensajja n’enkazi; ku nsolo ezitali nnongoofu twalako bbiri bbiri, ensajja n’enkazi; 3 era ne ku bibuuka mu bbanga twalako musanvu musanvu,* ekisajja n’ekikazi, ezzadde lyabyo lisobole okusigala ku nsi nga ddamu.+ 4 Kubanga oluvannyuma lw’ennaku musanvu ŋŋenda kutonnyesa enkuba+ ku nsi okumala ennaku 40, emisana n’ekiro;+ era ŋŋenda kusaanyaawo buli ekirina obulamu ku nsi kye nnakola.”+ 5 Nuuwa n’akola byonna Yakuwa bye yamulagira.
6 Nuuwa yali aweza emyaka 600 amataba we gajjira ku nsi.+ 7 Nuuwa n’ayingira mu lyato ne batabani be ne mukazi we ne baka batabani be ng’amataba tegannajja.+ 8 Ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku zitali nnongoofu, ne ku bibuuka, ne ku bitambula ku ttaka byonna,+ 9 ne ziyingira bbiri bbiri eri Nuuwa mu lyato, ensajja n’enkazi, nga Katonda bwe yalagira Nuuwa. 10 Era oluvannyuma lw’ennaku musanvu amataba ne gajja ku nsi.
11 Mu mwaka ogw’olukaaga ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogw’okubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu, ensulo zonna ez’oguyanja* ne zizibukuka, n’ebituli eby’eggulu ne bigguka.+ 12 Enkuba n’etonnya ku nsi okumala ennaku 40, emisana n’ekiro. 13 Ku lunaku olwo lwennyini Nuuwa yayingira mu lyato ne batabani be, Seemu, Kaamu, ne Yafeesi,+ ne mukazi we, ne baka batabani be abasatu.+ 14 Baayingira na buli nsolo ey’omu nsiko okusinziira ku kika kyayo, na buli nsolo erundibwa okusinziira ku kika kyayo, na buli nsolo ey’oku nsi eyeewalula* okusinziira ku kika kyayo, na buli ekibuuka okusinziira ku kika kyakyo, na buli kinyonyi ekya buli ngeri. 15 Ne bigenda eri Nuuwa mu lyato, bibiri bibiri ku buli ekirina omubiri ekirina omukka ogw’obulamu.* 16 Bwe bityo ne biyingira ekisajja n’ekikazi ku byonna ebirina omubiri, nga Katonda bwe yamulagira. Oluvannyuma Yakuwa n’aggalawo oluggi.
17 Enkuba n’etonnya ku nsi okumala ennaku 40, amazzi ne geeyongera ne gatandika okusitula eryato, ne liseeyeeya kungulu ku mazzi agaali gabuutikidde ensi. 18 Amazzi ne gajjula wonna ne geeyongera nnyo ku nsi, eryato ne liseeyeeya ku mazzi. 19 Amazzi ne gaba mangi nnyo ku nsi ne gabuutikira ensozi zonna empanvu ezaali wansi w’eggulu.+ 20 Amazzi gaalinnya ne gasukka ensozi obuwanvu bwa mikono* 15.
21 Ebiramu byonna ebyali ku nsi ne bizikirira:+ ebibuuka, ensolo ez’awaka, ensolo ez’omu nsiko, ebiramu ebitambulira mu bibinja, n’abantu bonna.+ 22 Buli kintu ekyali ku lukalu ekyalina omukka ogw’obulamu mu nnyindo zaakyo,+ ne kifa. 23 Bw’atyo Katonda n’asaanyaawo buli kiramu ekyali ku nsi: abantu, ensolo, ensolo ezeewalula, n’ebibuuka mu bbanga; byonna ne bisaanawo ku nsi.+ Nuuwa yekka n’abo be yali nabo mu lyato be baawonawo.+ 24 Amazzi ne gaba mangi nnyo ku nsi okumala ennaku 150.+