Olubereberye
21 Yakuwa n’ajjukira Saala nga bwe yali agambye, era Yakuwa n’akolera Saala kye yali asuubizza.+ 2 Saala n’aba olubuto,+ n’azaalira Ibulayimu omwana ow’obulenzi nga Ibulayimu akaddiye, mu kiseera ekigereke Katonda kye yali amusuubizza.+ 3 Ibulayimu n’atuuma omwana we omuwere Saala gwe yali amuzaalidde, erinnya Isaaka.+ 4 Ibulayimu yakomola Isaaka mutabani we nga wa nnaku munaana, nga Katonda bwe yali amulagidde.+ 5 Isaaka mutabani wa Ibulayimu yazaalibwa nga Ibulayimu aweza emyaka 100. 6 Saala n’agamba nti: “Katonda andeetedde enseko; buli anaakiwulira anaasekera wamu nange.”* 7 Era n’agattako nti: “Ani eyali asobola okugamba Ibulayimu nti, ‘Saala aliyonsa abaana’? Naye kati mmuzaalidde omwana ow’obulenzi mu myaka gye egy’obukadde.”
8 Omwana ne yeeyongera okukula n’atuuka okuggibwa ku mabeere; Ibulayimu n’afumba ekijjulo ekinene ku lunaku Isaaka lwe yaggibwa ku mabeere. 9 Saala n’alaba omwana wa Agali+ Omumisiri gwe yazaalira Ibulayimu ng’akudaalira Isaaka.+ 10 Bw’atyo n’agamba Ibulayimu nti: “Goba omuzaana ono ne mutabani we, kubanga omwana w’omuzaana tagenda kuba musika wamu n’omwana wange Isaaka!”+ 11 Naye kye yayogera ku mutabani wa Ibulayimu kyanakuwaza nnyo Ibulayimu.+ 12 Katonda n’agamba Ibulayimu nti: “Tonakuwala olw’ekyo Saala ky’akugambye ku mulenzi ne ku muzaana wo. Muwulirize* kubanga eririyitibwa ezzadde lyo liriyitira mu Isaaka.+ 13 Ne mutabani w’omuzaana wo+ naye ndimufuula eggwanga,+ kubanga mwana wo.”
14 Ibulayimu n’agolokoka ku makya n’addira emmere n’ensawo ey’eddiba ey’amazzi n’abiwa Agali. N’abimuteeka ku kibegaabega n’amugamba agende awamu n’omulenzi.+ Bw’atyo Agali n’agenda ng’abundabunda mu ddungu ly’e Beeru-seba.+ 15 Oluvannyuma amazzi ne gaggwaamu mu nsawo ey’eddiba, n’ateeka omulenzi mu kimu ku bisaka. 16 Bwe yamala n’agenda n’atuula yekka, nga yesudde ebbanga ng’akasaale we kagwa nga kalasiddwa, kubanga yagamba nti: “Saagala kulaba mulenzi ng’afa.” Bw’atyo n’atuula walako, n’atandika okutema emiranga.
17 Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi+ era malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’ayima mu ggulu n’amugamba+ nti: “Obadde ki Agali? Totya kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi awo w’ali. 18 Situka oyimuse omulenzi omuwanirire n’omukono gwo, kubanga ndimufuula eggwanga eddene.”+ 19 Katonda n’azibula amaaso ga Agali n’alaba oluzzi; n’agenda n’ajjuza ensawo ey’eddiba amazzi n’awa omulenzi n’anywa. 20 Katonda n’aba wamu n’omulenzi+ ng’agenda akula. Omulenzi n’abeeranga mu ddungu era n’afuuka omulasi w’obusaale. 21 Yabeeranga mu ddungu ly’e Palani,+ era maama we yamuwasiza omukazi okuva mu nsi ya Misiri.
22 Awo mu biro ebyo, Abimereki ng’ali wamu ne Fikoli omukulu w’eggye lye, n’agamba Ibulayimu nti: “Katonda ali naawe mu buli kimu ky’okola.+ 23 Kale ndayirira wano mu maaso ga Katonda nti tonkuusekuusenga nze n’abaana bange ne bazzukulu bange; era nti nga bwe nkulaze okwagala okutajjulukuka naawe bw’otyo bw’onookundaga nze n’ensi gy’olimu.”+ 24 Ibulayimu n’agamba nti: “Ndayira.”
25 Kyokka Ibulayimu ne yeemulugunyiza Abimereki olw’oluzzi abaweereza ba Abimereki lwe baamuggyako n’eryanyi,+ 26 Abimereki n’amugamba nti: “Simanyi yakola kintu ekyo; tewakimbuulirako, era leero lwe nsoose okukiwulira.” 27 Awo Ibulayimu n’atoola endiga n’ente n’aziwa Abimereki era bombi ne bakola endagaano. 28 Ibulayimu bwe yayawula endiga enkazi musanvu n’aziteeka zokka, 29 Abimereki n’amubuuza nti: “Lwaki oyawudde endiga zino enkazi omusanvu?” 30 Ibulayimu n’addamu nti: “Kkiriza endiga zino enkazi omusanvu ze nkuwa ng’obujulizi obulaga nti nze nnasima oluzzi luno.” 31 Eyo ye nsonga lwaki ekifo ekyo yakituuma Beeru-seba,*+ kubanga eyo bombi gye baalayirira. 32 Bwe batyo ne bakolera endagaano e Beeru-seba,+ oluvannyuma Abimereki n’asituka awamu ne Fikoli omukulu w’eggye, ne baddayo mu nsi y’Abafirisuuti.+ 33 Oluvannyuma lw’ebyo, Ibulayimu n’asimba omuti oguyitibwa omweseri e Beeru-seba era n’akoowoolera eyo erinnya lya Yakuwa,+ Katonda ow’emirembe n’emirembe.+ 34 Ibulayimu n’abeera* mu nsi y’Abafirisuuti okumala ekiseera kiwanvu.*+