2 Bassekabaka
7 Awo Erisa n’agamba nti: “Muwulirize Yakuwa ky’agamba. Bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Enkya mu budde nga buno, seya* emu ey’obuwunga obutaliimu mpulunguse ejja kuba egula sekeri emu, ate seya bbiri eza ssayiri zijja kuba zigula sekeri* emu ku mulyango oguyingira* mu Samaliya.’”+ 2 Awo omukungu kabaka gwe yali yeesiga n’agamba omusajja wa Katonda ow’amazima nti: “Yakuwa ne bw’anaggula ebituli by’eggulu, ekyo* kisobola okubaawo?”+ Erisa n’amuddamu nti: “Ojja kubiraba n’amaaso go,+ naye tojja kubiryako.”+
3 Waaliwo abagenge bana abaatuulanga ku mulyango oguyingira mu kibuga;+ awo ne bagambagana nti: “Kiki ekitutuuza wano okutuusa lwe tunaafa? 4 Bwe tugamba nti, ‘Ka tuyingire mu kibuga,’ nga mu kibuga waliyo enjala,+ tujja kufiirayo. Era bwe tutuula wano, tujja kufa. N’olwekyo mujje tugende mu lusiisira lw’Abasuuli. Bwe bataatutte, tujja kusigala nga tuli balamu, naye bwe banaatutta, kale tunaafa.” 5 Ne bayimuka ng’obudde buwungedde ne bayingira mu lusiisira lw’Abasuuli. Bwe baatuuka ku lusiisira lw’Abasuuli, tebaasangawo muntu yenna.
6 Yakuwa yali aleetedde eggye ly’Abasuuli okuwulira omusinde gw’amagaali ag’olutalo n’embalaasi, omusinde ogw’eggye eddene.+ Awo ne bagambagana nti: “Kabaka wa Isirayiri apangisizza bakabaka b’Abakiiti ne bakabaka ba Misiri bajje batulwanyise!” 7 Amangu ago ne basituka nga buwungedde, ne badduka okuwonya obulamu bwabwe, ne baleka awo weema zaabwe n’embalaasi zaabwe n’endogoyi zaabwe, olusiisira lwonna ne lusigala nga bwe lwali.
8 Abagenge bwe baatuuka ku lusiisira, ne bayingira mu weema emu, ne balya ne banywa ne baggyamu ffeeza ne zzaabu n’eby’ambalo ne babitwala ne babikweka. Ne bakomawo ne bayingira mu weema endala ne baggyamu ebintu ne babitwala nabyo ne babikweka.
9 Oluvannyuma ne bagambagana nti: “Kino kye tukola si kirungi. Tusaanidde tutegeezeeko abalala amawulire gano amalungi. Singa tulonzalonza ne tulinda okutuusa ng’emmambya esaze, tujja kuba tusaana kubonerezebwa. Ka tugende mu kibuga tubuulire ab’omu nnyumba ya kabaka.” 10 Awo ne bagenda ne bakoowoola abakuumi b’oku mulyango gw’ekibuga ne babagamba nti: “Tugenze mu lusiisira lw’Abasuuli, naye tetusanzeeyo muntu yenna wadde okuwulirayo omuntu yenna. Tusanzeeyo mbalaasi na ndogoyi byokka nga bisibiddwa, nga ne weema ziringa bwe baazirese.” 11 Amangu ago abakuumi b’oku mulyango ne bategeeza ab’omu nnyumba ya kabaka amawulire ago.
12 Awo kabaka n’agolokoka ekiro n’agamba abaweereza be nti: “Ka mbabuulire Abasuuli kye batukoze. Bakimanyi nti enjala etuluma;+ n’olwekyo bavudde mu lusiisira lwabwe beekweke ku ttale nga bagamba nti, ‘Abayisirayiri bajja kuva mu kibuga, era tujja kubakwata nga balamu, tuyingire mu kibuga.’”+ 13 Awo omu ku baweereza be n’amugamba nti: “Nkwegayiridde, abasajja bataano ka bagende n’embalaasi ttaano ku ezo ezisigaddewo mu kibuga. Bwe banaawonawo bajja kuba kye kimu n’Abayisirayiri abalala bonna abasigadde wano. Naye bwe banaafiirayo bajja kuba kye kimu n’Abayisirayiri abalala bonna abafudde. Ka tubatume bagendeyo balabe.” 14 Awo ne bafuna amagaali abiri n’embalaasi, kabaka n’abatuma mu lusiisira lw’Abasuuli, ng’agamba nti: “Mugende mulabe.” 15 Ne babawondera okutuukira ddala ku Yoludaani; era laba! ekkubo lyonna lyalimu ebyambalo n’ebintu Abasuuli bye baali basudde nga badduka olw’okutya. Awo ababaka ne baddayo ne bategeeza kabaka.
16 Abantu ne bagenda ne banyaga olusiisira lw’Abasuuli, seya emu ey’obuwunga obutaliimu mpulunguse n’eba ng’egula sekeri emu, ate seya bbiri eza ssayiri ne ziba nga zigula sekeri emu, nga Yakuwa bwe yali agambye.+ 17 Kabaka yali alonze omukungu we gwe yali yeesiga okukuuma omulyango gw’ekibuga, naye abantu baamulinnyirira ku mulyango n’afa, ng’omusajja wa Katonda ow’amazima bwe yali agambye kabaka ng’agenze gy’ali. 18 Ne kituukirira ng’omusajja wa Katonda ow’amazima bwe yali agambye kabaka nti: “Enkya mu budde nga buno, seya bbiri eza ssayiri zijja kuba zigulwa sekeri emu, ate seya emu ey’obuwunga obutaliimu mpulunguse ejja kuba egulwa sekeri emu, ku mulyango oguyingira mu Samaliya.”+ 19 Naye omukungu wa kabaka yali agambye omusajja wa Katonda ow’amazima nti: “Yakuwa ne bw’anaggula ebituli by’eggulu, ekyo* kisobola okubaawo?” Erisa yamuddamu nti: “Ebyo ojja kubiraba n’amaaso go, naye tojja kubiryako.” 20 Ekyo kyennyini kye kyamutuukako, kubanga abantu baamulinnyira ku mulyango n’afa.