Ekyamateeka
24 “Omusajja bw’awasanga omukazi naye omukazi n’atamusanyusa olw’okuba amulabyemu ekitasaana, anaamuwandiikiranga ebbaluwa eraga nti amugobye+ n’agimukwasa n’amugoba mu nnyumba ye.+ 2 Omukazi oyo bw’anaavanga mu nnyumba y’omusajja oyo, asobola okugenda n’afumbirwa omusajja omulala.+ 3 Singa omusajja ow’okubiri amukyawa era n’amuwandiikira ebbaluwa eraga nti amugobye n’agimukwasa n’amugoba mu nnyumba ye, oba singa omusajja oyo ow’okubiri eyamuwasa afa, 4 omusajja eyasooka okumuwasa kyokka n’amugoba takkirizibwenga kuddamu kumuwasa ng’amaze okufuuka atali mulongoofu, kubanga ekyo kya muzizo mu maaso ga Yakuwa. Toleetanga ekibi mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa okuba obusika.
5 “Omusajja bw’abanga yaakawasa, taweerezanga mu magye, era taweebwanga mulimu mulala gwonna. Anaalekebwanga n’asigala ewuwe okumala omwaka mulamba, n’asanyusa mukazi we.+
6 “Tewabangawo awamba olubengo oba enso ng’omusingo olw’ekyo ky’anaabanga awoze munne,+ kubanga aba atutte ekyo ekiyimirizaawo obulamu bw’omuntu* ng’omusingo.
7 “Omuntu bw’awambanga omu ku baganda be Abayisirayiri, n’amuyisa bubi era n’amutunda,+ oyo anaabanga awambye omuntu attibwanga.+ Oggyangawo ekibi mu mmwe.+
8 “Bwe wabalukangawo endwadde y’ebigenge,* mufubanga nnyo okukola byonna bakabona Abaleevi bye banaabalagiranga.+ Mufubanga okukolera ddala nga bwe nnalagira bakabona. 9 Jjukira Yakuwa Katonda wo kye yakola Miriyamu bwe mwali ku lugendo nga muva e Misiri.+
10 “Bw’owolanga munno ekintu kyonna,+ toyingiranga mu nnyumba ye kuggyamu ekyo ky’anaabanga akusingidde. 11 Oyimiriranga wabweru, era oyo gw’onoobanga owoze y’anaafulumyanga ekyo ky’anaabanga akusingidde n’akireeta gy’oli. 12 Era omuntu oyo bw’anaabanga mu bwetaavu tosulanga n’ekyo ky’anaabanga akusingidde.+ 13 Onoomuddizanga ekyo ky’anaabanga akusingidde amangu ddala ng’enjuba yaakagwa, era anaasulanga n’ekyambalo kye+ n’alyoka akusabira omukisa; ekyo kinaabanga kya butuukirivu gy’oli mu maaso ga Yakuwa Katonda wo.
14 “Tolyazaamaanyanga omukozi akolera empeera ali mu bwetaavu era omwavu, k’abe omu ku baganda bo oba omu ku bagwira abali mu nsi yo, mu bibuga* byo.+ 15 Onoomuwanga empeera ye ku lunaku olwo lwennyini+ ng’enjuba tennagwa kubanga ali mu bwetaavu, era empeera ye y’eyimirizaawo obulamu bwe. Bw’otookole bw’otyo, ajja kukaabirira Yakuwa ng’akuwawaabira, era ojja kubaako ekibi.+
16 “Bataata tebattibwenga olw’ekyo abaana baabwe kye banaabanga bakoze, n’abaana tebattibwenga olw’ekyo bakitaabwe kye banaabanga bakoze.+ Buli omu anattibwanga lwa kibi kye.+
17 “Tosalirizanga ng’osala omusango gw’omugwira oba ogw’omwana atalina kitaawe,*+ era totwalanga kyambalo kya nnamwandu okuba omusingo ng’oliko ky’omuwoze.+ 18 Jjukira nti wali muddu mu Misiri, Yakuwa Katonda wo n’akununulayo.+ Eyo ye nsonga lwaki nkuwa ekiragiro ekyo.
19 “Bw’okungulanga ebirime mu nnimiro yo ne weerabirayo ekiganda, toddangayo kukinona. Kinaabanga kya mugwira, n’omwana atalina kitaawe, ne nnamwandu;+ Yakuwa Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu byonna by’okola.+
20 “Bw’okubanga omuzeyituuni gwo, amatabi gaagwo togakubangamu mulundi mulala. Ebinaabanga bisigaddeko binaabanga bya mugwira, n’omwana atalina kitaawe, ne nnamwandu.+
21 “Bw’okungulanga ezzabbibu mu nnimiro yo ey’emizabbibu, toddangayo kunoga eyo eba esigaddeyo. Eneebanga ya mugwira, n’omwana atalina kitaawe, ne nnamwandu. 22 Jjukira nti wali muddu mu nsi ya Misiri. Eyo ye nsonga lwaki nkuwa ekiragiro ekyo.