Engero
2 Omuddu omutegeevu alifuga omwana akola ebiswaza;
Alifuna obusika ng’omu ku baana.
4 Omuntu omubi assaayo omwoyo ku bigambo ebirumya,
N’omusajja omulimba awuliriza ebigambo eby’ettima.+
5 Akudaalira omwavu anyiiza eyamutonda,+
N’oyo asanyuka ng’abalala bafunye emitawaana taaleme kubonerezebwa.+
7 Okwogera ebituufu* tekigwanira musirusiru.+
Kati olwo omufuzi* y’agwanira okwogera eby’obulimba?+
9 Asonyiwa akoze ekibi* aba anoonya okwagalibwa,+
Naye ayogera ku nsonga olutatadde ayawukanya ab’omukwano ennyo.+
11 Omuntu omubi aba ayagala kujeema bujeemi,
Naye bajja kumutumira omubaka omukambwe amubonereze.+
12 Waakiri osisinkana eddubu eriggiddwako abaana baalyo
N’otosisinkana musirusiru mu busirusiru bwe.+
13 Omuntu asasula ekibi olw’ekirungi,
Emitawaana tegiriva mu nnyumba ye.+
14 Okutandika olutalo kuba nga kuggulira mazzi.
Ovangawo ng’oluyombo terunnabalukawo.+
15 Omuntu eyejjeereza omubi, n’oyo asingisa omutuukirivu omusango+
—Bombi Yakuwa abakyayira ddala.
17 Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ekiseera kyonna,+
Era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.+
18 Atalina magezi akola endagaano era n’akkiriza
Okweyimirira omulala nga waliwo munne.+
19 Ayagala ennyombo aba ayagala okwonoona.+
N’oyo akola omulyango omuwanvu yeereetera okugwa.+
21 Omuntu azaala omwana omusirusiru ajja kulaba ennaku;
Era kitaawe w’omwana omusirusiru taba na ssanyu.+
24 Amagezi gaba awo mu maaso g’omutegeevu,
Naye amaaso g’abasirusiru gataayaaya okutuuka ku nkomerero y’ensi.+
26 Si kirungi okubonereza* omutuukirivu,
Era kiba kikyamu okukuba abantu ab’ebitiibwa.
28 Omusirusiru bw’asirika atwalibwa okuba ow’amagezi,
N’oyo abunira atwalibwa okuba omutegeevu.