Ekyamateeka
7 “Yakuwa Katonda wo bw’anaakutuusa mu nsi gy’onootera okuyingiramu era ogitwale,+ ajja kusaanyaawo amawanga amanene agaggye mu maaso go:+ Abakiiti, Abagirugaasi, Abaamoli,+ Abakanani, Abaperizi, Abakiivi, n’Abayebusi;+ amawanga musanvu agakusinga obunene n’amaanyi.+ 2 Yakuwa Katonda wo ajja kugawaayo gy’oli era ojja kugawangula.+ Ogazikirizanga.+ Tokolanga ndagaano nago era togakwatirwanga kisa.+ 3 Tofumbiriganwanga nabo. Bawala bo tobawanga batabani baabwe kubawasa, ne batabani bo tobawasizanga bawala baabwe.+ 4 Kubanga bajja kukyusa batabani bo balekere awo okungoberera era baweereze bakatonda abalala;+ obusungu bwa Yakuwa bubabuubuukire mmwe era abazikirize mu bwangu.+
5 “Naye kino kye muba mubakola: Ebyoto byabwe mubimenyeemenye, empagi zaabwe ze basinza+ muzibetente, ebikondo byabwe bye basinza*+ mubitemeeteme, n’ebifaananyi byabwe ebyole+ mubyokye. 6 Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Yakuwa Katonda wo. Ggwe Yakuwa Katonda wo gwe yalonda okuba eggwanga lye era ekintu kye ekiganzi* mu mawanga gonna agali ku nsi.+
7 “Yakuwa yabaagala era n’abalonda,+ si lwa kuba nti mmwe mwali musinga amawanga gonna obungi; mmwe mwali musinga obutono mu mawanga gonna.+ 8 Naye olw’okuba Yakuwa yabaagala, era olw’okuba yakuuma ekirayiro kye yalayirira bajjajjammwe,+ Yakuwa kyeyava abaggyayo n’omukono ogw’amaanyi, abanunule okuva mu nnyumba ey’obuddu,+ okuva mu mukono gwa Falaawo kabaka wa Misiri. 9 Okimanyi bulungi nti Yakuwa Katonda wo ye Katonda ow’amazima, era Katonda omwesigwa, akuuma endagaano ye era alaga okwagala okutajjulukuka eri abo abamwagala n’abo abakwata ebiragiro bye+ okutuusa emirembe lukumi. 10 Naye abo abatamwagala alibasasula n’abazikiriza.+ Talironzalonza kubonereza abo abamukyawa; alibasasula. 11 Kale fubanga okukwata ebiragiro n’amateeka bye nkulagira leero era obikole.
12 “Bwe munaawulirizanga amateeka gano era ne mugakwata, Yakuwa Katonda wo alikuuma endagaano era n’alaga okwagala okutajjulukuka bye yalayirira bajjajjaabo. 13 Ajja kukwagalanga era akuwenga omukisa era akwazenga. Ajja kukuwa abaana bangi,*+ era ajja kwaza ebibala by’ettaka lyo, emmere yo, omwenge gwo omusu, amafuta go,+ n’amagana go n’ebisibo byo, mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.+ 14 Oliweebwa omukisa okusinga amawanga amalala gonna.+ Mu ggwe temulibaamu musajja oba mukazi atalina mwana, wadde ekisolo ekitazaala.+ 15 Yakuwa alikuggyako endwadde zonna; era endwadde zonna embi ennyo ez’e Misiri+ z’omanyi talizikuleetako, naye alizireeta ku abo bonna abatakwagala. 16 Ozikirizanga* amawanga gonna Yakuwa Katonda wo g’akuwa.+ Tobasaasiranga,*+ era toweerezanga bakatonda baabwe,+ kubanga ekyo kiriba kyambika gy’oli.+
17 “Bw’ogambanga mu mutima gwo nti, ‘Amawanga gano manene nnyo okutusinga. Nnaasobola ntya okugagoba?’+ 18 Togatyanga.+ Ojjukiranga ebyo Yakuwa Katonda wo bye yakola Falaawo ne Misiri yonna,+ 19 ebigezo eby’amaanyi amaaso go bye gaalaba, n’obubonero n’ebyamagero+ n’omukono ogw’amaanyi era ogugoloddwa, Yakuwa bye yakozesa okukuggyayo.+ Bw’atyo Yakuwa Katonda wo bw’ajja okukola amawanga gonna g’otya.+ 20 Yakuwa Katonda wo ajja kubasindikira entiisa okutuusa abo abaliba basigaddewo+ nga bakwekwese lwe balizikirira. 21 Tobatya kubanga Yakuwa Katonda wo ali naawe,+ Katonda omukulu era ow’entiisa.+
22 “Yakuwa Katonda wo ajja kugoba mpolampola+ amawanga ago mu maaso go. Tojja kukkirizibwa kugamalawo mangu, ensolo ez’omu nsiko zireme okweyongera zikuyitirireko obungi. 23 Yakuwa Katonda wo ajja kubakugabulira era abawangulire ddala okutuusa lwe balisaanawo.+ 24 Ajja kugabula bakabaka baabwe mu mukono gwo,+ era ojja kusangula amannya gaabwe wansi w’eggulu.+ Tewali n’omu aliyinza kukuziyiza,+ okutuusa lw’olibasaanyaawo.+ 25 Ebifaananyi bya bakatonda baabwe ebyole mubyokyanga mu muliro.+ Teweegombanga ffeeza oba zzaabu abiriko wadde okumwetwalira,+ aleme kukusuula mu kyambika, kubanga wa muzizo eri Yakuwa Katonda wo.+ 26 Era toleetanga kintu kya muzizo mu nnyumba yo n’ofuuka ekintu eky’okuzikirizibwa nga kyo. Kikyayirenga ddala era okyetamwe kubanga kya kuzikirizibwa.