1 Abakkolinso
5 Mpulira nti mu mmwe mulimu omusajja eyeddiza muka kitaawe.+ Obugwenyufu*+ ng’obwo tebuli na mu ba mawanga. 2 Mu kifo ky’okunakuwala+ ne muggya mu mmwe omuntu akoze ekikolwa ekyo,+ mwegulumiza bwegulumiza? 3 Wadde nga siri nammwe mu mubiri, ndi nammwe mu mwoyo, era omuntu eyakola ekikolwa ekyo mmaze okumusalira omusango, nga nninga ali nammwe. 4 Bwe muba mukuŋŋaanye wamu mu linnya lya Mukama waffe Yesu, era nga n’omwoyo gwange guli wamu nammwe okuyitira mu maanyi ga Mukama waffe Yesu, 5 omusajja oyo mumuweeyo eri Sitaani,+ omubiri guzikirizibwe, omwoyo gusobole okuwonawo mu lunaku lwa Mukama waffe.+
6 Okwenyumiriza kwammwe si kulungi. Temumanyi nti ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna?+ 7 Muggyeewo ekizimbulukusa ekikadde, musobole okubeera ekitole ekiggya nga temuliimu kizimbulukusa. Kubanga Kristo, omwana gwaffe ogw’endiga ogw’Okuyitako,+ aweereddwayo.+ 8 N’olwekyo, ka tukwate embaga+ nga tetukozesa kizimbulukusa kikadde, wadde ekizimbulukusa eky’ebikolwa ebibi n’eky’okwonoona, wabula nga tukozesa emigaati egitali mizimbulukuse, egy’obwesimbu n’amazima.
9 Mu bbaluwa yange nnabawandiikira mulekere awo okukolagana n’abantu abagwenyufu,* 10 nga sitegeeza kwewalira ddala abantu abagwenyufu* ab’omu nsi eno,+ oba abantu ab’omulugube, abanyazi, oba abasinza ebifaananyi. Singa kyali bwe kityo, mwandibadde mulina okuva mu nsi eno.+ 11 Naye kaakano mbawandiikira obutakolagananga+ na muntu yenna ayitibwa ow’oluganda kyokka nga mugwenyufu,* oba nga wa mululu,+ oba ng’asinza ebifaananyi, oba nga muvumi, oba nga mutamiivu,+ oba nga munyazi,+ n’okulya temulyanga na muntu ng’oyo. 12 Eky’okusalira ab’ebweru omusango kinkwatirako wa? Temusalira ba munda musango, 13 Katonda n’agusalira ab’ebweru?+ “Omuntu omubi mumuggye mu mmwe.”+