Ezera
1 Mu mwaka ogwasooka ogw’obufuzi bwa Kabaka Kuulo+ owa Buperusi, ekigambo Yakuwa kye yayogera ng’ayitira mu Yeremiya okusobola okutuukirira,+ Yakuwa yateeka ekirowoozo mu mutima* gwa Kuulo kabaka wa Buperusi n’ayisa ekirango mu bwakabaka bwe bwonna era n’akissa ne mu buwandiike,+ nga kigamba nti:
2 “Bw’ati Kabaka Kuulo owa Buperusi bw’agamba, ‘Yakuwa Katonda w’eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw’omu nsi+ era annonze okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi+ ekiri mu Yuda. 3 Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Katonda we abeere naye, agende e Yerusaalemi ekiri mu Yuda azzeewo ennyumba ya Yakuwa Katonda wa Isirayiri, (ye Katonda ow’amazima) ennyumba ye eyali mu Yerusaalemi.* 4 Buli mugwira+ gy’ali, baliraanwa* be ka bamuyambe bamuwe ffeeza, zzaabu, n’ebintu ebirala era n’ebisolo, awamu n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire eby’ennyumba ya Katonda ow’amazima+ eyali mu Yerusaalemi.’”
5 Awo abakulu b’ennyumba za bakitaabwe aba Yuda n’aba Benyamini ne bakabona n’Abaleevi—abo bonna Katonda ow’amazima be yateekamu ekirowoozo—ne beeteekateeka okugenda okuzzaawo ennyumba ya Yakuwa eyali mu Yerusaalemi. 6 Baliraanwa baabwe bonna baabayamba ne babawa* ebintu ebikozesebwa ebya ffeeza, n’ebya zzaabu, n’ebintu ebirala ebikalu, n’ebisolo, n’ebintu eby’omuwendo, nga totaddeeko ebiweebwayo byonna ebya kyeyagalire.
7 Era Kabaka Kuulo yaggyayo ebintu eby’omu nnyumba ya Yakuwa Nebukadduneeza bye yali aggye mu Yerusaalemi n’abiteeka mu nnyumba ya katonda we.+ 8 Kabaka Kuulo owa Buperusi yatuma Misuledasi omuwanika okubiggyayo n’okuwandiika olukalala lwabyo, era n’abikwasa Sesubazzali*+ omwami wa Yuda.
9 Luno lwe lukalala lwabyo: ebibya ebya zzaabu ebiringa ebisero 30, ebibya ebya ffeeza ebiringa ebisero 1,000, ebibya ebirala 29, 10 obubakuli obwa zzaabu 30, obubakuli obwa ffeeza 410, n’ebintu ebirala ebikozesebwa 1,000. 11 Ebintu byonna ebikozesebwa ebya zzaabu n’ebya ffeeza byali 5,400. Ebyo byonna Sesubazzali yagenda nabyo, abaali bawaŋŋangusiddwa+ bwe baali bava e Babulooni nga baddayo e Yerusaalemi.