Ekyamateeka
11 “Yagalanga Yakuwa Katonda wo+ era otuukirizenga obuvunaanyizibwa bw’olina gy’ali era okwatenga amateeka ge n’ebiragiro bye bulijjo. 2 Mukimanyi bulungi leero nti njogera nammwe so si na baana bammwe abatamanyi era abatalabangako Yakuwa Katonda wammwe bw’akangavvula,+ era abatalabangako buyinza bwe,+ n’omukono gwe ogw’amaanyi+ ogugoloddwa. 3 Tebaalaba bubonero n’ebyo bye yakola mu Misiri ku Falaawo kabaka wa Misiri ne ku nsi ye yonna;+ 4 oba ekyo kye yakola amagye ga Misiri, embalaasi za Falaawo n’amagaali ge ag’entalo, ebyabuutikirwa amazzi g’Ennyanja Emmyufu bwe baali nga babawondera, era Yakuwa yabazikiririza ddala.*+ 5 Tebaalaba ebyo bye yabakolera mu ddungu okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino; 6 era tebaalaba ekyo kye yakola Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu mutabani wa Lewubeeni, ensi bwe yayasama nga Isirayiri yonna eraba, n’ebamira awamu n’ab’ennyumba zaabwe, ne weema zaabwe, na buli kiramu ekyali nabo.+ 7 Amaaso gammwe ge gaalaba ebintu byonna eby’ekitalo Yakuwa bye yakola.
8 “Mukwatenga ebiragiro byonna bye mbawa leero, musobole okuba ab’amaanyi, musomoke muyingire mu nsi mugitwale, 9 era musobole okuwangaala+ mu nsi Yakuwa gye yalayira okuwa bajjajjammwe n’ezzadde lyabwe,+ ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.+
10 “Ensi gy’ogenda okutwala teringa ensi ya Misiri gye mwava, gye mwasiganga ensigo, n’okola n’amaanyi okufukirira ennimiro nga bwe wandifukiridde ennimiro y’enva. 11 Naye ensi gye mugenda okutwala nga musomose, nsi ya nsozi na nsenyi,+ era enywa amazzi g’enkuba eva mu ggulu;+ 12 nsi Yakuwa Katonda wo gy’afaako. Amaaso ga Yakuwa Katonda wo gagibeerako ekiseera kyonna, okuva ku ntandikwa y’omwaka okutuuka ku nkomerero yaagwo.
13 “Era bwe munaafubanga okukwata ebiragiro bye mbawa leero, ne mwagalanga Yakuwa Katonda wammwe, ne mumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna n’obulamu bwammwe bwonna,+ 14 naye ajja* kutonnyesanga enkuba mu nsi yammwe mu kiseera kyayo ekigereke, enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo, era mujja kufunanga emmere yammwe n’omwenge gwammwe omusu era n’amafuta gammwe.+ 15 Ajja* kumerezanga ebisolo byo omuddo ku ttale lyo, era ojja kulyanga okkute.+ 16 Mwegendereze emitima gyammwe gireme kutwalirizibwa ne mukyuka okusinza bakatonda abalala era ne mubavunnamira.+ 17 Bwe munaakola bwe mutyo, obusungu bwa Yakuwa bujja kubabuubuukira, era ajja kusiba eggulu enkuba ereme kutonnya,+ ettaka terijja kubaza mmere, era mujja kusaanawo mangu mu nsi ennungi Yakuwa gy’abawa.+
18 “Ebigambo byange bino mubiteekenga ku mitima gyammwe era mubikolerengako mu bulamu bwammwe; mubisibenga ku mikono gyammwe bibeere ng’eky’okujjukiza, era binaabanga ng’eky’okwesiba mu byenyi byammwe.*+ 19 Era mubiyigirizenga abaana bammwe; mubyogerengako nga mutudde mu nnyumba zammwe, nga mutambula mu kkubo, nga mugalamidde, era nga mugolokose.+ 20 Mubiwandiikenga ku myango gy’ennyumba zammwe ne ku nzigi z’ekibuga kyammwe, 21 mmwe n’abaana bammwe mulyoke muwangaale+ mu nsi Yakuwa gye yalayira okuwa bajjajjammwe,+ mugibeeremu ebbanga lyonna eggulu lye linaamala waggulu w’ensi.
22 “Bwe munaafubanga okukwata ebiragiro bino bye mbawa era ne mubikolerako, ne mwagala Yakuwa Katonda wammwe,+ ne mutambuliranga mu makubo ge gonna era ne mumunywererako,+ 23 Yakuwa naye ajja kugoba amawanga gano gonna mu maaso gammwe,+ era mujja kuwangula amawanga ag’amaanyi era amanene okubasinga.+ 24 Buli kifo ekigere kyammwe we kinaalinnya kijja kuba kyammwe.+ Ensalo yammwe+ ejja kuva mu ddungu okutuuka e Lebanooni, n’okuva ku Mugga, Omugga Fulaati, okutuuka ku nnyanja ey’ebugwanjuba.* 25 Tewali n’omu aliyinza okubaziyiza.+ Yakuwa Katonda wammwe ajja kuleetera abantu bonna ab’omu nsi gye mugenda okulinnyako okutekemuka n’okutya,+ nga bwe yabasuubiza.
26 “Laba, leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n’okukolimirwa:+ 27 munaabanga n’omukisa bwe munaagonderanga ebiragiro bya Yakuwa Katonda wammwe bye mbawa leero;+ 28 munaakolimirwanga bwe mutaagonderenga biragiro bya Yakuwa Katonda wammwe+ ne mukyuka okuva mu kkubo lye mbalagira leero okutambuliramu ne mugoberera bakatonda abalala be mutamanyi.
29 “Yakuwa Katonda wo bw’anaakutuusa mu nsi gy’ogenda okutwala, ojja kulangirira* omukisa ng’oyima ku Lusozi Gerizimu n’ebikolimo ng’oyima ku Lusozi Ebali.+ 30 Ensozi ezo teziri ku luuyi lwa Yoludaani olw’ebugwanjuba, mu nsi y’Abakanani ababeera mu Alaba, mu maaso ga Girugaali okuliraana emiti eminene egya Moole?+ 31 Mugenda kusomoka Yoludaani muyingire mutwale ensi Yakuwa Katonda wammwe gy’abawa.+ Bwe munaagitwala era ne mutandika okugibeeramu, 32 mufube okukwata amateeka gonna n’ebiragiro byonna bye nteeka mu maaso gammwe leero.+