Eby’Abaleevi
2 “‘Omuntu yenna bw’anaabanga ow’okuwaayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke+ eri Yakuwa, ekiweebwayo kye kinaabanga kya buwunga obutaliimu mpulunguse, era anaabufukangako amafuta g’ezzeyituuni n’abuteekako n’obubaani obweru.+ 2 Anaakireetanga eri batabani ba Alooni, bakabona, era kabona anaatoolangako olubatu lw’obuwunga obutaliimu mpulunguse, amafuta, n’obubaani bwakyo obweru bwonna, n’abwokera ku kyoto okukiikirira ekiweebwayo kyonna;+ kiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi.* 3 Ekinaasigalangawo ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke kinaabanga kya Alooni ne batabani be,+ ng’ekintu ekitukuvu ennyo+ okuva ku biweebwayo bya Yakuwa ebyokebwa n’omuliro.
4 “‘Bw’onoobanga wa kuwaayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekifumbiddwa mu kabiga, kinaabanga kya bugaati obwetooloovu* obutali buzimbulukuse, obuteekeddwamu amafuta g’ezzeyituuni, obukoleddwa mu buwunga obutaliimu mpulunguse, oba kinaabanga kya bugaati obw’oluwewere obutali buzimbulukuse obusiigiddwako amafuta g’ezzeyituuni.+
5 “‘Ekiweebwayo kyo bwe kibanga eky’emmere ey’empeke efumbiddwa ku kikalango,+ kinaabanga kya buwunga obutaliimu mpulunguse obuteekeddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga tebuliimu kizimbulukusa. 6 Kinaamenyebwangamu obutundutundu n’obuyiwako amafuta g’ezzeyituuni.+ Ekyo kiweebwayo eky’emmere ey’empeke.
7 “‘Ekiweebwayo kyo bwe kibanga ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekifumbiddwa mu ntamu, kinaabanga kya buwunga obutaliimu mpulunguse era n’amafuta g’ezzeyituuni. 8 Onooleetanga eri Yakuwa ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekikoleddwa mu bintu ebyo, era kinaawebwanga kabona n’akitwala okumpi n’ekyoto. 9 Kabona anaatoolanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke okukiikirira ekiweebwayo kyonna,+ n’akyokera ku kyoto ng’ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi.*+ 10 Ekinaasigalangawo ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke kinaabanga kya Alooni ne batabani be, ng’ekintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo bya Yakuwa ebyokebwa n’omuliro.+
11 “‘Temuwangayo eri Yakuwa ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekirimu ekizimbulukusa,+ kubanga temulina kuwaayo eri Yakuwa kizimbulukusa oba omubisi gw’enjuki ng’ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro.
12 “‘Ebyo muyinza okubiwaayo eri Yakuwa ng’ekiweebwayo eky’ebibala ebibereberye,+ naye tebyokerwanga ku kyoto okuba evvumbe eddungi.*
13 “‘Buli kiweebwayo eky’emmere ey’empeke ky’onoowangayo okiteekangamu omunnyo; era omunnyo gw’endagaano ya Katonda wo tegubulanga mu kiweebwayo kyo eky’emmere ey’empeke. Buli ky’onoowangayo onookiteekangamu omunnyo.+
14 “‘Bw’onoobanga wa kuwaayo eri Yakuwa ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eky’ebibala ebibereberye, onoowangayo eŋŋaano* eyaakakungulwa, ng’eyokeddwako ku muliro era nga ya mpulunguse, ng’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eky’ebibala byo ebibereberye.+ 15 Onookiteekangako amafuta g’ezzeyituuni n’obubaani obweru. Kiweebwayo eky’emmere ey’empeke. 16 Kabona anaayokyanga emu ku ŋŋaano ey’empulunguse n’amafuta g’ezzeyituuni awamu n’obubaani bwonna obweru, okukiikirira ekiweebwayo kyonna,+ ng’ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro.