Okuva
21 “Gano ge mateeka g’onoobawa:+
2 “Bw’ogulanga omuddu Omwebbulaniya,+ anaakuweerezanga okumala emyaka mukaaga, naye mu mwaka ogw’omusanvu aweebwanga eddembe lye n’agenda nga talina ky’asasudde.+ 3 Bw’aba nga yajja yekka, agendanga yekka. Bw’aba nga yajja n’omukazi, mukazi we agendanga naye. 4 Mukama we bw’amuwanga omukazi, omukazi oyo n’amuzaalira abaana ab’obulenzi oba ab’obuwala, omukazi n’abaana banaabanga ba mukama we, era agendanga yekka.+ 5 Naye omuddu bw’agambanga nti, ‘Njagala mukama wange, ne mukazi wange, n’abaana bange; saagala kulekebwa kugenda mbe wa ddembe,’+ 6 mukama we amutwalanga mu maaso ga Katonda ow’amazima, n’amusembeza ku luggi oba ku mwango, n’amuwummula okutu ng’akozesa olukato, era anaabanga muddu we obulamu bwe bwonna.
7 “Omusajja bw’atundanga muwala we okuba omuddu, taalekebwenga kugenda abe wa ddembe mu ngeri y’emu ng’abaddu abasajja bwe balekebwa. 8 Mukama we bw’anaabanga tamusiimye, era nga tamufudde muzaana we,* naye n’amuleka okugulibwa omuntu omulala,* taabenga na buyinza kumuguza bagwira kubanga anaabanga amuliddemu olukwe. 9 Bw’amuwanga mutabani we okuba mukazi we, anaamuyisanga nga muwala we. 10 Bw’awasanga omukazi omulala, taakendeezenga ku mmere na bya kwambala by’awa mukazi we eyasooka, era amusasulanga ekyo ekimugwanira mu bufumbo.*+ 11 Bw’ataamuwenga bintu ebyo byonsatule, omukazi oyo anaagendanga n’aba wa ddembe, awatali kusasula ssente.
12 “Omuntu yenna anaakubanga omuntu n’afa anattibwanga.+ 13 Naye bw’amuttanga mu butanwa, nja kussaawo ekifo gy’anaddukiranga+ kubanga teyagenderera kumutta. Katonda ow’amazima yakireka ne kibaawo. 14 Omuntu bw’asunguwaliranga munne n’amutta mu bugenderevu,+ ne bw’anaabeeranga ku kyoto kyange omuggyangayo n’attibwa.+ 15 Omuntu anaakubanga kitaawe oba nnyina anattibwanga.+
16 “Oyo yenna anaawambanga omuntu+ n’amutunda, oba n’asangibwa ng’amulina,+ anattibwanga.+
17 “Oyo yenna anaakolimiranga kitaawe oba nnyina anattibwanga.+
18 “Kino kye kinaakolebwanga singa abantu bayomba omu n’akuba munne ejjinja oba ekikonde* naye n’atafa, kyokka n’abeera ku ndiri: 19 bw’abanga asobola okusituka n’afuluma ebweru ng’atambuza omuggo, oyo eyamukuba taabonerezebwenga. Naye anaamuliyiriranga olw’ebiseera by’anaamala nga takola mirimu gye, okutuusa ng’awonedde ddala.
20 “Omuntu bw’akubanga omuddu we omusajja oba omukazi omuggo n’afa, omuddu oyo anaawoolerwanga eggwanga.+ 21 Naye bw’amalangawo olunaku oba ennaku bbiri nga tannafa, taawoolerwenga ggwanga kubanga mukama we yamugula na ssente ze.
22 “Abantu bwe balwananga ne balumya omukazi ow’olubuto, n’azaala nga tannatuusa,*+ naye ne watabaawo afa,* oyo anaabanga azzizza omusango ogwo anaaliwanga okusinziira ku ekyo nnannyini mukazi ky’anaabanga amusalidde; era anaakisasulanga ng’akiyisa mu balamuzi.+ 23 Naye bwe wanaabangawo afudde, owangayo obulamu olw’obulamu,+ 24 eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo, omukono olw’omukono, ekigere olw’ekigere,+ 25 okwokebwa olw’okwokebwa, ekiwundu olw’ekiwundu, okukubibwa olw’okukubibwa.
26 “Omuntu bw’anaakubanga eriiso ly’omuddu we omusajja oba omukazi ne lifa, anaamulekanga n’agenda n’aba wa ddembe, ng’amuliyirira olw’eriiso lye.+ 27 Bw’anaggyangamu erinnyo ly’omuddu we omusajja oba omukazi, anaamulekanga n’agenda n’aba wa ddembe, ng’amuliyirira olw’erinnyo lye.
28 “Ente bw’etomeranga omukazi oba omusajja n’afa, eneekubibwanga amayinja n’efa;+ ennyama yaayo teeriibwenga; kyokka nnannyini yo taabonerezebwenga. 29 Naye ente bw’eba nga yalina omuze ogw’okutomera era nga nnannyini yo yalabulwa naye n’atagisiba, n’etta omusajja oba omukazi, ente eyo eneekubibwanga amayinja n’efa era ne nnannyini yo anattibwanga. 30 Bw’anaasalirwanga omutango, awangayo ebyo byonna bye banaabanga bamusalidde okusobola okununula obulamu bwe. 31 Ente ne bw’ebanga etomedde muwala oba mulenzi, nnannyini yo anaakolwangako okusinziira ku tteeka eryo. 32 Bw’eneetomeranga omuddu omusajja oba omukazi, nnannyini yo anaasasulanga nnannyini muddu oyo sekeri* 30, era ente eneekubibwanga amayinja n’efa.
33 “Omuntu bw’abikkulanga ekinnya, oba bw’asimanga ekinnya n’atakibikkako, ente oba endogoyi n’egwamu, 34 nnannyini kinnya anaaliyiriranga nnannyini nsolo,+ ensolo efudde n’eba yiye. 35 Ente y’omuntu bw’etomeranga ey’omulala n’egitta, batundanga ente ennamu ne bagabana ssente; n’enfu nayo bagigabananga. 36 Bwe kiba nga kyali kimanyiddwa nti ente erina omuze ogw’okutomera, naye nnannyini yo n’atagisiba, aliwanga ente olw’ente, kyokka eyo efudde n’eba yiye.