Engero
2 Mwana wange, bw’onokkiriza ebigambo byange
Era ebiragiro byange n’obikuuma ng’ekintu eky’omuwendo,+
2 N’otega okutu kwo n’owuliriza amagezi+
Era n’ossaayo omutima gwo eri okutegeera;+
3 Bw’onookoowoolanga okumanya+
Era n’okaabirira okutegeera;+
4 Bw’onoobinoonyanga ng’anoonya ffeeza,+
N’obiwenja ng’awenja eby’obugagga ebyakwekebwa;+
5 Olwo lw’onootegeera kye kitegeeza okutya Yakuwa,+
N’ovumbula okumanya okukwata ku Katonda.+
7 Aterekera abagolokofu amagezi;
Ye ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.+
8 Akuuma amakubo ag’obwenkanya,
Era ajja kukuuma ekkubo ly’abantu be abeesigwa.+
10 Amagezi bwe gayingira mu mutima gwo+
N’oyagala ennyo okumanya,+
11 Obusobozi bw’okulowooza obulungi bunaakukuumanga+
N’okutegeera kunaakukuumanga,
12 Bijja kukuwonya okukwata ekkubo ebbi,
N’omuntu ayogera ebitasaana,+
13 N’abo abava mu makubo amagolokofu
Ne batambulira mu mpenda ez’ekizikiza,+
14 Bijja kukuwonya abo abasanyukira ebikolwa ebibi,
Abasanyukira ebitasaana,
15 Abatambulira mu makubo amakyamu
Era abatali beesigwa mu byonna bye bakola.
16 Bijja kukuwonya omukazi omwenzi,
N’ebigambo ebisikiriza* eby’omukazi omugwenyufu,*+
17 Alekawo munne* ow’oku lusegere ow’omu buvubuka bwe+
Era eyeerabira endagaano ya Katonda we;
18 Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,
N’amakubo ge gatwala omuntu eri abo abaafa.+
20 N’olwekyo, tambulira mu kkubo ery’abantu abalungi,
Era tova mu kkubo ly’abatuukirivu,+
21 Kubanga abagolokofu be balibeera mu nsi,