Abaruumi
10 Ab’oluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe kye kino, nti balokolebwe.+ 2 Mbawaako obujulirwa nti banyiikira okuweereza Katonda;+ naye okunyiikira kwabwe tekwesigamye ku kumanya okutuufu. 3 Olw’obutamanya mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu,+ naye ne beeteerawo egyabwe ku bwabwe,+ tebaagoberera mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu.+ 4 Kubanga Kristo ye nkomerero y’Amateeka,+ buli akkiriza asobole okufuna obutuukirivu.+
5 Musa yawandiika ku butuukirivu obufunibwa okuyitira mu Mateeka n’agamba nti: “Omuntu akola ebintu ebyo anaabanga mulamu olw’ebyo.”+ 6 Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bugamba nti: “Togambanga mu mutima gwo nti,+ ‘Ani anaalinnya mu ggulu?’+ kwe kugamba, okuleeta Kristo ku nsi; 7 oba, ‘Ani anakka mu bunnya?’+ kwe kugamba, okuggya Kristo mu bafu.” 8 Naye Ekyawandiikibwa kigamba ki? Kigamba nti: “Ekigambo kiri kumpi naawe, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo”;+ kwe kugamba, “ekigambo” eky’okukkiriza kye tubuulira. 9 Kubanga, bw’olangirira mu lujjudde n’akamwa ko nti Yesu ye Mukama waffe,+ era n’okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, ojja kulokolebwa. 10 Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe okufuna obutuukirivu, naye ayatula na kamwa ke mu lujjudde+ okufuna obulokozi.
11 Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: “Tewali n’omu amukkiririzaamu aliswala.”+ 12 Kubanga tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani.+ Bonna Mukama waabwe y’omu, agabira mu bungi abo bonna abamukoowoola. 13 Kubanga “buli alikoowoola erinnya lya Yakuwa* alirokolebwa.”+ 14 Naye banaakoowoola batya gwe batannakkiririzaamu? Era banakkiririza batya mu gwe batannawulirako? Era banaawulira batya nga tewali abuulira? 15 Era banaabuulira batya nga tebatumiddwa?+ Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Ebigere by’abo abalangirira amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi nga birabika bulungi!”+
16 Naye si bonna nti baagondera amawulire amalungi. Kubanga Isaaya yagamba nti: “Yakuwa,* ani akkiririzza mu kigambo kye twawulira?”+ 17 N’olwekyo, okukkiriza kufunibwa oluvannyuma lw’okuwulira ekigambo.+ Era ekigambo kiwulirwa nga waliwo ayogera ebikwata ku Kristo. 18 Naye ka mbuuze, Tebaawulira? Ddala baawulira, kubanga “eddoboozi lyabyo lyabuna ensi yonna, era obubaka bwabyo bwatuuka ensi gy’ekoma.”+ 19 Ka mbuuze, Isirayiri teyamanya?+ Okusooka Musa agamba nti: “Ndibakwasa obuggya nga nkozesa eggwanga eritalina mugaso; ndibaleetera okusunguwala nga nkozesa eggwanga essirusiru.”+ 20 Naye Isaaya ayoleka obuvumu bwa maanyi n’agamba nti: “Nnazuulibwa abo abaali batannoonya;+ nnamanyibwa abo abaali batambuulirizaako.”+ 21 Kyokka ayogera bw’ati ku Isirayiri: “Olunaku lwonna ngololedde emikono gyange abantu abajeemu era abawaganyavu.”+