Omubuulizi
10 Ng’ensowera enfu bwe zireetera amafuta ag’akaloosa okwonooneka ne gawunya bubi, n’obusirusiru obutonotono bubuutikira amagezi g’omuntu n’ekitiibwa kye.+
2 Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumutwala mu kkubo ettuufu,* naye omutima gw’omusirusiru gumutwala mu kkubo ekkyamu.*+ 3 Mu makubo ge gonna, omusirusiru tayoleka magezi,*+ era alaga abantu bonna nga bw’ali omusirusiru.+
4 Obusungu* bw’omufuzi bwe bukubuubuukira, tova mu kifo ky’olimu,+ kubanga obukkakkamu buziyiza ebibi eby’amaanyi.+
5 Waliwo ekintu eky’ennaku kye ndabye wansi w’enjuba, ye nsobi abali mu buyinza gye bakola:+ 6 Abasirusiru bateekebwa mu bifo ebya waggulu, naye abalina obusobozi* ne bateekebwa mu bifo ebya wansi.
7 Ndabye abaweereza nga beebagadde embalaasi, kyokka ng’abakungu batambuza bigere ng’abaweereza.+
8 Omuntu asima ekinnya ayinza okukigwamu;+ n’oyo amenya ekisenge ky’amayinja omusota guyinza okumubojja.
9 Omuntu asima amayinja gayinza okumutuusaako akabi, era n’oyo ayasa enku ziyinza okumutuusaako akabi.*
10 Embazzi bw’eba terina bwogi n’etawagalwa, agikozesa alina okukozesa amaanyi mangi. Naye amagezi gayamba omuntu okutuuka ku buwanguzi.
11 Omusota bwe gubojja omuntu nga tegunnalogebwa guleme kubojja, aloga emisota aba takyagasa.
12 Ebigambo ebiva mu kamwa k’omuntu ow’amagezi bisanyusa,+ naye emimwa gy’omusirusiru gimuzikiriza.+ 13 Ebigambo ebisooka okuva mu kamwa ke bya busirusiru,+ n’ebigambo ebisembayo okuva mu kamwa ke ddalu ery’akabi. 14 Kyokka omusirusiru yeeyongera bweyongezi kwogera.+
Omuntu tamanyi binaabaawo; ani ayinza okumubuulira ebinaabaawo ng’amaze okufa?+
15 Okufuba kw’omusirusiru kumukooya, n’atasobola na kumanya kkubo lya kuyitamu kutuuka mu kibuga.
16 Ensi eba mu buzibu kabaka waayo bw’aba nga mulenzi muto,+ ate nga n’abakungu baayo bakeera kulya bijjulo. 17 Ensi eba bulungi, kabaka waayo bw’aba nga mwana w’abakungu, era nga n’abakungu baayo baliira mu kiseera ekituufu okusobola okufuna amaanyi, so si kutamiira.+
18 Olw’obugayaavu obungi, akasolya kagwamu, era n’ennyumba etonnya lwa kulera ngalo.+
19 Omugaati gufumbibwa* kuleeta nseko, n’omwenge guleeta essanyu mu bulamu,+ naye ssente zikola ku byetaago byonna.+
20 Tokolimiranga kabaka wadde mu birowoozo byo,*+ era toyogeranga bubi ku* bagagga ng’oli mu kisenge kyo, kubanga ekinyonyi* kiyinza okutwala eddoboozi lyo,* era ekitonde ekirina ebiwaawaatiro kiyinza okuddamu bye wayogedde.