Ekyamateeka
34 Awo Musa n’ava mu ddungu lya Mowaabu n’ayambuka ku Lusozi Nebo,+ ku ntikko ya Pisuga,+ olutunudde e Yeriko.+ Yakuwa n’amulaga ensi yonna okuva e Gireyaadi okutuuka e Ddaani,+ 2 ne Nafutaali yonna, n’ensi ya Efulayimu ne Manase, n’ensi yonna eya Yuda okutuukira ddala ku nnyanja ey’ebugwanjuba,+ 3 ne Negebu,+ n’ekitundu ekya Yoludaani,+ olusenyi lwa Yeriko, ekibuga eky’enkindu, okutuukira ddala e Zowaali.+
4 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Eno ye nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo nga ŋŋamba nti, ‘Ndigiwa ezzadde lyo.’+ Nkulese ogirabe n’amaaso go naye tojja kusomoka kugendayo.”+
5 Oluvannyuma lw’ebyo, Musa omuweereza wa Yakuwa n’afiira eyo mu nsi ya Mowaabu nga Yakuwa bwe yagamba,+ 6 n’amuziika mu kiwonvu, mu nsi ya Mowaabu mu maaso ga Besu-pyoli, era n’okutuusa leero tewali amanyi we yaziikibwa.+ 7 Musa we yafiira yali aweza emyaka 120.+ Amaaso ge gaali tegayimbadde era ng’akyalina amaanyi. 8 Abantu ba Isirayiri ne bakaabira Musa mu ddungu lya Mowaabu okumala ennaku 30.+ Awo ekiseera eky’okukaaba n’okukungubagira Musa ne kiggwaako.
9 Yoswa mutabani wa Nuuni yali ajjudde omwoyo ogw’amagezi, olw’okuba Musa yali amutaddeko emikono;+ Abayisirayiri ne bamuwuliriza era ne bakola nga Yakuwa bwe yalagira Musa.+ 10 Mu Isirayiri tewabangawo nate nnabbi alinga Musa,+ Yakuwa gwe yali amanyi maaso ku maaso.+ 11 Yakola obubonero bwonna n’ebyamagero Yakuwa bye yamutuma okukola mu nsi ya Misiri okubonereza Falaawo n’abaweereza be bonna n’ensi ye yonna,+ 12 nga kw’otadde n’omukono ogw’amaanyi era n’amaanyi ag’ekitalo bye yayoleka mu maaso ga Isirayiri yonna.+