Abaruumi
11 Kale ka mbuuze, Katonda yeesamba abantu be?+ Nedda! Kubanga nange ndi Muyisirayiri ow’omu zzadde lya Ibulayimu, okuva mu kika kya Benyamini. 2 Katonda teyeesamba bantu be, be yasooka okufaako.+ Temumanyi kyawandiikibwa kye kyogera ku Eriya bwe yeegayirira Katonda nga yeemulugunya ku Bayisirayiri? 3 Yagamba nti: “Yakuwa,* basse bannabbi bo, bamenye ebyoto byo, nze nzekka asigaddewo, era kaakano baagala okuggyawo obulamu bwange.”+ 4 Naye Katonda yamuddamu atya? Yamuddamu nti: “Nneerekeddewo abantu 7,000 abatafukaamiridde Bbaali.”+ 5 Mu ngeri y’emu, ne mu kiseera kino waliwo abasigaddewo+ abalondeddwa olw’ekisa eky’ensusso. 6 Kale, bwe kiba nti balondeddwa lwa kisa eky’ensusso,+ baba tebakyalondebwa kusinziira ku bikolwa;+ singa kiri bwe kityo, ekisa eky’ensusso kyandibadde tekikyali kisa kya nsusso.
7 Kati olwo tugambe ki? Ekintu kyennyini Isirayiri kye yali anoonya teyakifuna, naye abo abaalondebwa baakifuna.+ Abalala emitima gyabwe gyafuuka mikakanyavu,+ 8 nga bwe kyawandiikibwa nti: “Katonda yabawa omwoyo ogw’otulo otungi ennyo,+ amaaso agatalaba n’amatu agatawulira, okutuusa leero.”+ 9 Dawudi naye agamba nti: “Emmeeza yaabwe k’ebafuukire ekyambika, omutego, ekyesittaza, era ka babonerezebwe. 10 Amaaso gaabwe ka gajjeko ekifu baleme okulaba, era bulijjo okutamyenga emigongo gyabwe.”+
11 Kale ka mbuuze, Beesittala ne bagwira ddala? Nedda! Naye olw’okuba baayonoona, ab’amawanga balokolebwa, ne babakwasa obuggya.+ 12 Bwe kiba nti okwonoona kwabwe kutegeeza bugagga eri ensi, era nga n’okukendeera kwabwe kutegeeza bugagga eri ab’amawanga,+ omuwendo gwabwe bwe guliggwaayo, obugagga tebulisingawo obungi?
13 Kaakano njogera eri mmwe ab’amawanga. Nga bwe ndi omutume eri amawanga,+ ngulumiza obuweereza bwange,+ 14 ndabe obanga nnina bwe nnyinza okuleetera abantu bange okukwatibwa obuggya, nsobole okulokolako abamu ku bo. 15 Bwe kiba nti okugobebwa kwabwe+ kutegeeza ensi okutabagana ne Katonda, okukomezebwawo kwabwe tekulitegeeza okuva mu kufa okudda mu bulamu? 16 Ate era, ekitole ky’eŋŋaano ekandiddwa ekitwalibwa ng’ebibala ebibereberye bwe kiba ekitukuvu, esigaddewo yonna nayo eba ntukuvu; era ekikolo bwe kiba ekitukuvu, amatabi nago gaba matukuvu.
17 Kyokka, bwe kiba nti amatabi agamu gaamenyebwako, naye ggwe, wadde nga wali ttabi ery’omuzeyituuni ogw’omu nsiko, n’oteekebwa mu kifo kyago n’ogabana ku bugimu bw’ekikolo ky’omuzeyituuni, 18 teweewaanira ku matabi; bw’oba ng’ogeewaanirako+ kijjukire nti si ggwe awaniridde ekikolo, wabula ekikolo kye kikuwaniridde. 19 Ojja kugamba nti: “Amatabi gaamenyebwako nze nsobole okuyungibwako.”+ 20 Ekyo kituufu! Olw’obutaba na kukkiriza gaamenyebwako,+ naye ggwe oyimiridde lwa kukkiriza.+ Teweegulumiza wabula weegendereze. 21 Kubanga bwe kiba nti Katonda teyalekawo matabi agaakulira ku muti, naawe tajja kukulekawo. 22 N’olwekyo, lowooza ku kisa kya Katonda+ n’obusungu bwe. Abo abaagwa aboolekeza obusungu bwe,+ naye ggwe ajja kukulaga ekisa kye singa onoosigala mu kisa kye; bwe kitaba kityo naawe ojja kumenyebwako. 23 Nabo bwe balaga okukkiriza bajja kuyungibwako;+ kubanga Katonda asobola okuddamu okubayungako. 24 Bwe kiba nti watemebwa ku muzeyituuni ogw’omu nsiko n’oyungibwa ku muzeyituuni ogw’omu nnimiro, ekintu ekitali kya buzaaliranwa, nga kiriba kyangu nnyo amatabi agaakulira ku muzeyituuni okuzzibwa ku muti gwago!
25 Ab’oluganda, njagala mumanye ekyama kino ekitukuvu,+ muleme okwetwala okuba ab’amagezi: Abamu ku Bayisirayiri bafuuse bakakanyavu. Ekyo kijja kuba bwe kityo okutuusa ng’omuwendo omujjuvu ogw’ab’amawanga gumaze okuggwaayo, 26 era mu ngeri eno Isirayiri yenna+ ajja kulokolebwa, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omununuzi* ajja kuva mu Sayuuni+ aggyewo ebikolwa ebibi mu Yakobo. 27 Era bwe ndisonyiwa ebibi byabwe+ ndikola endagaano nabo.”+ 28 Kyo kituufu nti ku bikwata ku mawulire amalungi, balabe olw’okuganyula mmwe, naye ku bikwata ku kulonda kwa Katonda, baagalwa ku lwa bajjajjaabwe.+ 29 Kubanga ebirabo bya Katonda n’okuyita kwe talibyejjusa. 30 Kubanga nga nammwe edda bwe mwali abajeemu eri Katonda+ naye nga kati musaasiddwa+ olw’obujeemu bwabwe,+ 31 na bano kati bajeemye ne kiviirako mmwe okusaasirwa, nabo balyoke basaasirwe. 32 Kubanga bonna wamu Katonda abasibidde mu bujeemu,+ alyoke abasaasire bonna.+
33 Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge n’okumanya kwe nga bya buziba! Ensala ye ey’emisango nzibu okutegeerera ddala mu bujjuvu, n’amakubo ge gonna tetusobola kugategeera ne tugamalayo. 34 “Ani asobodde okutegeera Yakuwa* by’alowooza, oba ani amuwa amagezi?”+ 35 Oba, “ani yali asoose okubaako ky’awa Katonda, naye alyoke amusasule?”+ 36 Kubanga ebintu byonna biva gy’ali, era biriwo kuyitira mu ye, era biriwo ku lulwe. Aweebwe ekitiibwa emirembe gyonna. Amiina.